TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Asangiddwa ng'abba ebyuma ebikola oluguudo aba LDU bamukubye amasasi

Asangiddwa ng'abba ebyuma ebikola oluguudo aba LDU bamukubye amasasi

Added 19th June 2019

Asangiddwa ng'abba ebyuma ebikola oluguudo aba LDU bamukubye amasasi

ABASERIKALE aba LDU baliko omusajja gwebakubye amasasi n'atwalibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka era ne bakwata ne munne gw'abadde naye nga bano basangiddwa lubona nga babba ebyuma ebyatekebwa ku makubo ku luguudo lwa Entebe Express High way.

Akubiddwa amasasi ategerekeseeko elya Gonzaga Ssempijja 37 ne mune Innocent Turinawe 30 nga ye yewaddewo mu mikono gya poliisi n'atwalibwa ku poliisi ye Entebe nga bano okukubibwa amasasi kyaddiridde okubasanga ekiro ku ssaawa kkumi ez'okumakya  ku kyalo kye Lutaba mu Ggombolola ye Bukasa nga babba ebyuma ku kubo kyokka ababiri bano bwebalabye aba LDU nga bagya kwekudduka ne babayimiriza ne bagaana okuyimilira nga wano kwekutandika okubawekerezza amasasi okukkakkana nga gakutte Ssempijja wabula Turinawe bweyalaba nga munne bamukubye amasasi neyewaayo ne bamukwata era ne bamukwasa poliisi ye Entebe.

Omwogezi wa magye ag'okuttaka Col: Henry Obbo yagambye nti Gavument eteeka ssente nyingi mu nguudo naye ebyuma ebisinga bibbiddwa nga bakugenda mu maaso n'okukola ekikwekweto ku Bantu abanyaga ebyuma ku makubo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...