TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akakiiko k'ettaka kakunyizza aba bbanka ya Baronda ku bintu bya kasitoma ebyatundibwa

Akakiiko k'ettaka kakunyizza aba bbanka ya Baronda ku bintu bya kasitoma ebyatundibwa

Added 19th June 2019

Muky. Atukunda yategeezezza nti ebiwandiiko bye baamulaga byali biraga nti bba yeewola obukadde 15 kyokka bwe baatuuka okutunda ettaka okwali n’amaka gaabwe balitunda obukadde 5 zokka.

 Akulira Bank of Baroda, Ashwini Kumar (ku ddyo) ng'ava mu kakiiko k'ettaka.

Akulira Bank of Baroda, Ashwini Kumar (ku ddyo) ng'ava mu kakiiko k'ettaka.

 

AKAKIIKO akanoonyereza ku mivuyo gy'ettaka kakunyizza abakulira Bank of Baroda ku ngeri gye baatundamu ettaka lya bakasitoma baabwe ababa balemeddwa okusasula ssente za looni.

Akakiiko okuyita aba bbanka kiddiridde omukyala Barbra Atukunda Sseruwo okwekubira enduulu mu kakiiko n'aggulawo omusango nga yeemulugunya ku ngeri aba bbanka gye baatundamu ettaka lye.

Atukunda agamba nti bba, Joseph Sseruwo yafa mu 1994 n'amulekera ettaka eriwezaako yiika 20 e Nalusugga mu ggombolola y'e Nangabo mu disitulikiti y'e Wakiso naye aba bbanka bajja ne balitunda nga bagamba nti omugenzi yafa alidde looni ya bukadde 15 n'emulema okusasula.

Atukunda yategeeza akakiiko k'omulamuzi Catherine Bamugemereire nti yali takiwulirangako nti bba alina looni era bwe yabasaba ebiwandiiko ebikwatagana ku looni baagaana okubimuwa okutuusa nga wayise ennaku mbale nga banaatera okutunda.

Yategeezezza nti ebiwandiiko bye baamulaga byali biraga nti bba yeewola obukadde 15 kyokka bwe baatuuka okutunda ettaka okwali n'amaka gaabwe bbanka yakozesa wannyondo wa kkooti Micheal Mawanda (kati omubaka wa Igara East) ettaka lye omuli n'ennyumba ne balitunda obukadde 5 bwokka ate ne likomekkereza nga liri mu mannya ga Mawanda.

Agamba nti muno mwalimu kyekubiira kubanga ssente ze baatunda ettaka zaali za nseko buseko ababalirizi baali babaze ng'ettaka n'ennyumba yamwo bigyamu obukadde 51.

Akulira bbanka Ashwini Kumar bwe yazze mu kakiiko okwewozaako ebiwandiiko ebisinga ebikwatagana n'okutunda ettaka teyazze nabyo ng'agamba nti emyaka mingi egiyiseewo. Yagambye nti eky'okuba ng'ettaka baalitunda ssente ntono tasobola kubaako ky'akyogera kubanga tamanyi mbeera ki eyaliwo mu kiseera ekyo.

Agaseeko nti yo nga bbanka erina amateeka agagobererwa nga bwe gakulema okutuukiriza ebintu byo bitundibwa nga nabo kye bakola okubitunda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu