TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Red Cross ne KCCA bayonjezza ebyalo mu Nakawa

Aba Red Cross ne KCCA bayonjezza ebyalo mu Nakawa

Added 19th June 2019

Bano olumalirizza okuyonja basomesezza abatuuze ku ngeri y’okukuumamu obuyonjo basobole okwewala endwadde era wano ab’ekitongole kya KCCA we babalabulidde okwewala okumansa kasasiro ne kazambi mu myala.

 Aba Red Cross n'abaana b'amasomero nga balongoosa akabuga k'e Kinnawattaka.

Aba Red Cross n'abaana b'amasomero nga balongoosa akabuga k'e Kinnawattaka.

Bya TONNY KAYEMBA

AB'EKITONGOLE kya Red Cross ettabi ly'e Nakawa nga bali wamu n'aba KCCA bayonjezza ebyalo mu Divizoni y'e Nakawa ebibadde mu mbeera embi nga kasasiro n'emyala egibooze binaatera kutuuka mu mayumba.

Bano nga bakulembeddwaamu Kenneth Kategaya akulira Red Cross ettabi ly'e Nakawa bayonjeza ebyalo okuli Kinnawattaka, Kago ne Mbuya nga bino bibadde bifumbekeddemu kasasiro n'obujama obususse ekyavaako n'okulumbibwa kkolera mu mwezi gwa May omwaka oguwedde mu zooni y'e Katoogo.

Kategaya ategeezezza nti baasazeewo okukwatagana ne KCCA nga bayita mu kampeyini yaayo eya ‘Weyonje' ne bakwatagana n'amasomero g'omu kitundu wamu n'abakulembeze b'ebyalo bino  okuyonja ebitundu bino nga bayoola kasasiro abadde afumbekedde ku makubo ne mu myala kwosa okweera obubuga okusobola okutangira endwadde eziva ku bujama kubanga ebitundu bye bayonjezza bye bimu ku bisinga okubeera ebijama mu Divizoni y'e Nakawa ate nga n'omugotteko mungi.

Bano olumalirizza okuyonja basomesezza abatuuze ku ngeri y'okukuumamu obuyonjo basobole okwewala endwadde era wano ab'ekitongole kya KCCA we babalabulidde okwewala okumansa kasasiro buli we basanze kw'ossa n'okumansa kazambi mu myala ne bategeeza nti anaakwatibwa ng'akikola waakuvunaanibwa .

Tonny Kavuma Ssentebe wa Kago Zooni ategeezezza nga mu kitundu kino bwe balina ekizibu ky'omugotteko ng'amayumba amangi nga n'abamu bazimba ne bamalayo poloti zaabwe ne batasigazaawo we basima kaabuyonjo nga bano be bamu abamansa kazambi buli we basanze nga n'abamu bafulumira mu bulobo ne mu buveera we buziba ne babinyugunya mu myala. Ayongeddeko ng'ebimotoka bya KCCA ebya kasasiro we bikoma ku kkubo nga tebikkirira wansi mu batuuze ekibaleetera okumuyiwa mu myala ne mu makubo olw'okubulwa gy ebamukungaanyiza ebimotoka bino okumukima n'asaba ab'ekitongole okubalowoozaako mu nsonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...