TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Added 24th June 2019

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Mbogo High School ne Hana International mu bawala wamu ne Kibuli SSS ne Kakungulu Memorial mu balenzi gayiseemu okuzannya mu mpaka za Badminton eza Africa e Zambia. 

Kino kiddiridde Mbogo ne Kibuli okweddiza ebikopo mu mpaka z'amasomero ate Hana ne Kakungulu ne gakwata ekyokubiri mu mpaka ezimaze ennaku ssatu e Lugogo mu Indoor Arena. 

CEO wa Uganda Badminton Association (UBA), Simon Mugabi ategeezezza nti gonna galina omukisa wabula nga gakusooka kwetaba mu za East Africa e Tanzania mu August naddeko eza Africa e Zambia. 

Mbogo yakyeddizza bwe yakubye Hana ku bogoba 3-1 ate kibuli n'ekuba Kakungulu 3-2.   "Bazannya Badminton nga tetulinda mpaka. Twagala kudda mu za East Africa omulundi ogwokuna, eza Africa omulundi ogwokubiri", omutendesi wa Mbogo High, William Kabindi bw'ategeezeza. 

Mu balenzi, Kibuli SSS ekubye Kakungulu Memorial ku bugoba 3-2 omutendesi Jopshua Muguluma n'agamba nti bagenda kunoonya nsimbi ezibatwala mu mpaka za East Africa Schools.  "Omwaka oguwedde twawangudde empaka naye ne tutagenda mu za East Africa e Rwanda lwa bbula lya nsimbi", Muguluma bwe yategeezezza. 

Abayizi 500 okuva mu masomero 40 be beetabye mu mpaka z'amasomero mu Badminton omwaka guno nga baavuganyizza mu myaka 10, 13, 15, ne 19 abawala n'abalenzi mu ttiimu ne ssekinnoomu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo