TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni asisinkanye abakungu ba China okutema empanda z'enkulaakulana

Museveni asisinkanye abakungu ba China okutema empanda z'enkulaakulana

Added 25th June 2019

Museveni asisinkanye abakungu ba China okutema empanda z'enkulaakulana

 Pulezidenti Museveni ng'ali mu kafubo n'abakulembeze ba China wamu n'abakungu betatambudde nabo okuva mu Uganda

Pulezidenti Museveni ng'ali mu kafubo n'abakulembeze ba China wamu n'abakungu betatambudde nabo okuva mu Uganda

OLWALEERO pulezidenti Museveni alumazeeko ng'asisinkana Baminisita ba China n'abakungu abakola ku nsonga ez'enjawulo okuteesa ku kuzimba oluguudo lw'eggaali y'omukka n'amafuta.

Asoose kusisinkana minisita wa China ow'ensonga ez'ebweru Wang Yi, ne bateesa ku ngeri China gy'egenda okuwagira Uganda okuzimba Standard Gauge Railway SGR.

Wang agambye nti China neetegefu okuwagira banywanyi baayo mu Africa ng'ekulembeza Uganda ku buli mutendera gwa nkulaakulana.

Museveni mu nsisinkano eno awerekeddwako Baminisita  ow'ensonga z'ebweru Sam Kuteesa, ow'enguudo Monica Azuba Ntege, omubaka wa Uganda  e China Dr. Crispus Kiyonga n'omubaka wa China mu Uganda  Zhang Zhuqiang.

Olumalirizza olukiiko olusoose ate pulezidenti ne yeesogga olukiiko olulala ne Hua Yan akulira kkampuni esima amafuta eya CNOOC.  Ensisinkano egendereddwamu okwongera okugaziya n'okunyweza enkolagana wakati wa Uganda China ku nsonga z'amafuta ne Gas.

Museveni agambye nti okusalawo eky'enkomeredde ku nsonga z'amafuta, buli ludda lusaana okusooka okwetegereza ennyo bye lusalawo.

Pulezidenti Museveni ali China ku bugenyi bwa nnaku nnya nga yayitibwa mukulu munne pulezidenti wa China Xi Jinping, agenze asisinkana abakungu ab'enjawulo ng'anoonyeza Uganda abavujjirizi b'enkulaakulana.

Akulira CNOOC Hua yatenderezza Uganda olw'okuteekawo obutebenkevu n'embeera esobozesa ba yinyesita okwegazaanyiza mu Uganda. Ensisinkano eno nayo yeetabiddwa minisita Kuteesa ne Ssabawolereza wa gavumenti William Byaruhanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....