TOP

Bakansala bakubaganidde mu kanso

Added 27th June 2019

KANSO y’e Lubaga eyayitiddwa okuteesa ku kasasiro asusse mu Munisipaali eyo yayiise oluvannyuma lwa bakansala okuwaanyisiganya ebisongovu n’ekyaddiridde kulwaganagana.

 Bakansala nga bagezaako okutangira munnaabwe Lubega (wakati) okulumba Lusembo.

Bakansala nga bagezaako okutangira munnaabwe Lubega (wakati) okulumba Lusembo.

Bya ERIA LUYIMBAZI
 
KANSO y'e Lubaga eyayitiddwa okuteesa ku kasasiro asusse mu Munisipaali eyo yayiise oluvannyuma lwa bakansala okuwaanyisiganya ebisongovu n'ekyaddiridde kulwaganagana.
 
Embeera okutabuka, bakansala baasoose kukakasa ebiteeso bya kanso eyasembyeyo wabula ne bafuna obutakkaanya ku kkampuni eziyoola kasasiro ng'abamu bawagira zisigale nga zikola kyokka abalala nga bakiwakanya.
 
Omumyuka Meeya Asuman Ntale eyakubirizza kanso ebintu byamutabuseeko Kansala Juma Lubega amanyiddwa nga Kabotongo (Kabowa I) bwe yasituse ng'agamba nti baali basazeewo kkampuni zonna eziyoola kasasiro zigobwe mu Lubaga kuba omulimu ogwazikwasibwa guziremye ng'ayagala KCCA yezze obuvunaanyizibwa wabula banne ne bamuwakanya nga bagamba nti zikoze bulungi.
 
Wabula Musa Lusembo (Ndeeba III) yamucoomedde n'amulagira atuule wansi kuba yabadde alemesa olukiiko okugenda mu maaso nga kino kyaggye Lubega mu mbeera n'amwambalira ne beesika ebitogi era baabadde bafunya ku mikono gy'amasaati gaabwe bakubagane, bakansala abalala ne babatebuka.
 
Embeera yalemeredde Ntale n'alagira omuserikale wa kanso okukwata omuggo ogwa Kanso ne bafuluma olukiiko, bw'etyo kanso n'eyabuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NRM ekaayidde abeesimbyewo ...

AKAKIIKO k’ebyokulonda aka NRM kalabudde nga bwe kagenda okusazaamu eyeesimbyewo yenna anaasangibwa ng’akubye...

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...