TOP

Akasattiro ka bbomu ku nkambi e Bombo

Added 27th June 2019

WAABADDEWO akasattiro mu kabuga k’e Bombo ekintu ekyefaananyiriza bbomu bwe kyasangiddwa nga kisuuliddwa okumpi n’enkambi y’amagye.

 Omuserikale asitudde ekintu kye baakoleredde okulowoozesa abantu nti bbomu.

Omuserikale asitudde ekintu kye baakoleredde okulowoozesa abantu nti bbomu.

Bya WASSWA B. SSENTONGO ne JOSEPH MUTEBI
 
WAABADDEWO akasattiro mu kabuga k'e Bombo ekintu ekyefaananyiriza bbomu bwe kyasangiddwa nga kisuuliddwa okumpi n'enkambi y'amagye.
 
Okumpi n'ekintu kino waabaddewo olukalala lw'amannya g'abantu agaagattiddwaako
obubaka obutiisatiisa okubatta.
 
Kyokka amagye gaayanguye okuleeta abakugu mu by'okutegulula bbomu ne baggyawo ekintu kino.
 
Omwogezi w'amagye g'oku ttaka Lt. Col. Henry Obbo yategeezezza nti, ekitereke kyatwaliddwa ne kyekebejjebwa. N'agamba nti kino kyakoleddwa bamenyi b'amateeka
abaagala okusasamaza n'okussa eggwanga ku bunkenke kye baavudde bawandiika olukalala lw'abantu ng'abamu ku bo banene mu ggwanga ne balussa we baasudde ekintu kino kyanguyize abantu okukiraba.
 
"Ffe nga UPDF twagala okulabula abantu bano nti tutandikiddewo okubanoonya. Tujja kubakwata bakolebweko", bwe yalabudde.
 
N'agumya abantu abaalabikidde ku lukalala nti Gavumenti etaddewo obukuumi eri buli muntu era tewali ajja kubatusaako bulabe.
 
Ekikolwa kino yakiyise kya butiitiizi okussa abantu ku bunkenke kyokka ng'ekibaluwa
tekirina makulu. Olukalala olutiisatiisa kuliko munnamawulire Bashir Kazibwe
Mbaziira, Minisita Idah Nantaba, owa poliisi Luke Owoyesigyire, Sheikh Nuhu Muzaata, omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo n'abalala.
 
Abaawandiise ekibaluwa bewaanye nti be baatemula Sheikh Hassan Kirya, Sheikh Musitafa Bahiga, Maj. Muhammad Kiggundu, Andrew Felix Kaweesi ne Muhammad Kirumira.
 
Kyokka abeebyokwerinda baategeezezza nti okubuuliriza mu butemu obwo kusonga abeenyigira mu kutemula abantu abo.
 
Abaawandiise ekibaluwa baakikozesezza kutiisatiisa. Omutuuze Keneth Kimbowa eyakedde okugenda okukola eggulo yabadde atambulira ebbali w'oluguudo ku mayiro 21, ku ludda okuli olukomera olwetoloola enkambi y'amagye n'alaba ekintu
kino.
 
Kyabadde kizingiddwa mu kiveera kiddugavu nga kissiddwaako essaawa eya ‘digito'
eyabadde ekyusakyusa ennamba.
 
Okumpi n'ekintu kino waabaddewo olukalala okuli amannya n'obubaka obutiisatiisa okubatemula.
 
Kimbowa yadduse ewa ssentebe wa LC1, Sulaiman Mukasa eyasitukiddemu ne bagenda ne Kimbowa ku poliisi eriraanyeewo.
 
Mu kiseera kino abantu baabadde bakuhhaanye kyokka nga beesudde akabanga okuva awaabadde ekigambibwa okuba bbomu.
 
Emmotoka ezaabadde ziyitawo nazo zaayimiridde okwetegereza ekiguddewo.
 
Poliisi yakolaganye n'amagye e Bombo, aba UBDF bazze nga bakulemberwa Lt. Col. Obbo ne basalawo okuleeta abakugu mu bya bbomu abazze ne baggyawo ekintu kino.
 
Bino we bibeereddewo nga waakayita ennaku ntono oluvannyuma lw'abatemu
okulumba omutuuze mu kitundu Hajat Bitijuma Namwanje eyatemuddwa emisana.
 
AMAGYE GEEWEREDDE ABATIISATIISA
Lt. Col. Obbo yategeezezza akawungeezi k'eggulo nti abakugu beekebezze ekintu kino ne bakizuula nti teyabadde bbomu.
 
Waliwo eyasibye ebintu mu kitereke okutiisatiisa abatuuze n'agezaako okuteeka eggwanga ku bunkenke.
 
"Ebyokwerinda by'eggwanga tetuyinza kukkiriza kubizannyirako.
 
Tutandikiddewo okunoonya abantu abo, tujja kubakuba tubasanyeewo", bwe yalabudde. Yasiimye abatuuze okubeera abeegendereza ne banguwa okuloopera
abeebyokwerinda ekintu kye beekengedde.
 
Okumala ekiseera wabaddewo abasasaanye ebipapula ebitiisatiisa okukola ku banene obulabe.
 
Wadde ababisasaanya beewaana okuba nga be beetemula abantu ab'enjawulo, kyokka abeebyokwerinda balowooza nti kino bakyeteekako kutiisatiisa.
 
Abantu abalala abazze bateekebwa ku nkalala z'okutta Waliwo abantu be bazze batiisatiisa okubatta kyokka ne kizuulwa abeebyokwerinda ng'abasasaanya ebibaluwa bino bagenderera kussaawo mbeera ya bunkenke.
 
Mu bassibwa mu bibaluwa kuliko omulangira Kassim Nakibinge, Sheikh Muhamood Kibaate, Najib Ssonko, Loodi Meeya Erias Lukwago, Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga n'abalala. Kyokka tewannabaawo bulabe butuusibwa ku bantu abo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...

Omugagga Hamis Kiggundu ng'annyonnyola

Omugagga Ham azzeemu okuttu...

OMUGAGGA Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham agonzezza banka n'ekkiriza okuggyawo omutemwa gw'okusooka okusasula...