TOP

Babalaze ssentebe omutuufu

Added 27th June 2019

ABATUUZE b’e Ssumbwe ku lw’e Mityana mu Wakiso Mumyuka balagiddwa ssentebe waabwe owa LCI omutuufu oluvannyuma lwa kkooti y’e Wakiso okusala omusango ng’ekyalo kino kimaze ebbanga nga kirina bassentebe babiri.

 Ssaalongo Kabanda (akutte omuzindaalo) n’abamu ku b’agenda okukulembera nabo.

Ssaalongo Kabanda (akutte omuzindaalo) n’abamu ku b’agenda okukulembera nabo.

Bya JOANITA NANGONZI
 
ABATUUZE b'e Ssumbwe ku lw'e Mityana mu Wakiso Mumyuka balagiddwa ssentebe waabwe owa LCI omutuufu oluvannyuma lwa kkooti y'e Wakiso okusala omusango ng'ekyalo kino kimaze ebbanga nga kirina bassentebe babiri.
 
Ssaalongo Charles Kabanda Ssentamu ye yayanjuddwa kansala wa Wakiso Mumyuka ku disitulikiti e Wakiso, Deogratius Kiruma nga ssentebe w'ekyalo n'amukwasa ne sitampu oluvannyuma lw'okusinga omusango guno mu kkooti y'e Wakiso.
 
Wabaddewo okusika omuguwa wakati wa Charles Kabanda Ssentamu ne Erisa Mutebi nga ye ssentebe eyaliko n'alemera mu ntebe oluvannyuma lw'okulonda.
 
Erisa Mutebi yaloopa Charles Kabanda eyalangirirwa ng'omuwanguzi mu kakiiko k'ebyokulonda nti baamulangirira mu bukyamu kubanga okulonda tekwaggwa bulungi akakiiko ne kayimiriza akakiiko ka LCI akapya.
 
Kabanda naye yagenda mu kkooti y'e Wakiso n'aloopa Erisa Mutebi okutuusa omulamuzi bwe yasaze nga June 14, 2019 nti, Charles Kabanda ye ssentebe omutuufu era n'alagira Erisa Mutebi okuliyirira Kabanda ssente 40,000,000/- n'akakiiko k'ebyokulonda kamuliyirire ssente 45,000,000/-.
 
Oluvannyuma lw'ensala eno baategese olukiiko lw'ekyalo nga lwetabyemu abakulembeze ab'enjawulo okwabadde omubaka wa Busiro East mu Palamenti, Medard Lubega Sseggona, akulira ebikwekweto mu bitundu by'e Buloba, Simon Atwine, bakansala ab'enjawulo n'abatuuze.
 
Medard Lubega Sseggona yasabye Kabanda okusonyiwa Mutebi wadde yamuwangudde mu kkooti n'agamba nti omukulembeze omutuufu tabeera mu ntalo.
 
Ate Simon Atwine yasuubizza nti abaserikale bagenda kukyusa mu nkola gye bayisaamu abantu okuli okubakwata ne bamenya densite zaabwe nti omusango gwa kireereese gwadibizibwa dda. Sseggona era yasabye abatuuze bongere okumwesiga baddemu bamuwagire abakiikirire mu Palamenti n'acoomera abamwogerera nti taziika bakikomye kuba ssi gwe mulimu gwe baamuttuma mu Palamenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...