TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakristu bakubiriziddwa okukulembeza Katonda mu buli kyebakola

Abakristu bakubiriziddwa okukulembeza Katonda mu buli kyebakola

Added 1st July 2019

Abakristu bakubiriziddwa okukulembeza Katonda mu buli kyebakola

Bya Benadino Kate

ABAKRISITU bakubirizidwa okusooka okulowooza kwebyo katonda byayagala nga tebanakola kintu kirala kyona.

Bino byabagambidwa Rev Fr Simon peter Kikomeko bwanamukulu we kigo kya Ourlady of Fatima  Nakulabye bweyabadde akulembeddemu mmisa ku kisomesa kya St Kizito Sub parish Namungoona ku ssande ku lunaku lw'okujaguza olunaku lw'omutuukirivu waabwe Kizito omuto ate ssaako n'okuweza emyaka 36 bukyanga kisomesa kino kitandikibwawo.

Fr yagambye nti okwesiga katonda n'okusoosowaza ebyo byayagala yengeri yoka abakrisitu gyebasobola okutambula obulungi ate   ne kibayamba okunywerera mu ddiini awamu n'okukuza obulungi abaana.

Eyabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno Emmanuel Muwonge omusomesa ku Ndejje university yasabye abakiriza okwetanira okuwaayo ennyo  eri omukama kisobozese  bannaddiini okudukanya obulungi emirimu gya klezia.

Mungeri yeemu yagambye nti omukrisitu buli lwa waayo eri omukama ekyo kyawaddeyo kikubisibwamu emirundi mingi ddala   nayongera okufuna byabadde talina.

Kumukolo  guno abakrisitu basonze ssente  okuyambako omulimu gwebaatongozza omwaka ogwaggwa  ogw'okuzimba enyumba za bafaaza awamu ne woofisi ze klezia nga Muwonge eyabadde omugenyi omukulu yasonze 2,000,000/=.

Ye John Ssenkubuge Kisaawe ssabakrisitu we kisomesa kino yagambye nti,nga tujaguza  okuweza emyaka 36 esira tulitadde nnyo kukuzimba ekisomesa kino era nasaba abakrisitu bona okwenyigira mumulimu gw'okuzimba nga mutoola kwebyo ebitono byemulina

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...