TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amasomero ga Gavumenti mu Kira gaweereddwa entebe

Amasomero ga Gavumenti mu Kira gaweereddwa entebe

Added 3rd July 2019

Abayizi babadde batuula beenyigiriza ng’abamu beerera n’abalala ne batuula ku ttaka.

 Meeya Mutebi (wakati) ng'akwasa abakulu b'amasomero entebe. Amuddiridde ku ddyo ye Kato.

Meeya Mutebi (wakati) ng'akwasa abakulu b'amasomero entebe. Amuddiridde ku ddyo ye Kato.

Bya TONNY KAYEMBA

AMASOMERO ga gavumenti mu Munisipaali y'e Kira gaweereddwa entebe ezituulwako okubayambako ku kizibu ky'obutaba na ntebe zimala mu masomero gano. Abayizi babadde batuula beenyigiriza ng'abamu beerera n'abalala ne batuula ku ttaka.

Ku mukolo ogwabadde ku kitebe kya Munisipaali eno e Kira nga gukulembeddwaamu Meeya wa Kira, Julius Mutebi Nsubuga  ne Hussein Kato akulira ebyenjigiriza mu Kira baagabidde amasomero entebe  68 okuli ery'e Kijabijjo P/S abaaweereddwa entebe 15, Kireka Umea 15,  Namugongo Girls P/S 19 ne Kira C/U  19 nga zaakwasiddwa abakulira amasomero gano.

Meeya Mutebi ategeezezza ng'amasomero g'omu Kira bwe galina okusoomozebwa kw'obutaba na ntebe olw'omujjuzo naddala mu ga gavumenti kwe kubawa entebe okulaba ng'ekizibu kino kinogebwa eddagala era n'ategeeza nga n'endala 141 bwe bali mu kuzikola ng'essaawa yonna baakuzongera amasomero gano.

Yeebazizza abakulu b'amasomero gano olw'okuguma ne bakolera mu mbeera ey'okunyigirizibwa era n'ategeeza nga bwe balina enteekateeka egenda mu masomero ga gavumenti baddaabirize entebe ezaamenyeka n'okwongera okusitula ku mbeera z'abasomesa n'abayizi nga bongera ku bizimbe bye bazze babazimbira.

Hussein Kato akulira ebyenjigiriza mu Munisipaali y'e Kira ategeezeza nti obukadde obusoba mu 20 buweddewo nga bakola omulimu guno  n'ategeeza nga bwe bakyalina obwetaavu bw'entebe endala kubanga bwe baalambula amasomereo gano baakizuula ng'obwetaavu bw'entebe buli waggulu wabula n'asaba abafunye entebe zino okuzikwata obulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...