TOP

Obuvune bwa Stav buwadde b'avuganya essuubi

Added 3rd July 2019

Obuvune bwa Stav buwadde b'avuganya essuubi

NG'ABAVUZI ba ddigi beetegekera empaka za 'Mountain Dew Motorcross Championship', abavugira mu mutendera ogwokutaano (MX85cc), bafunye ku buweerero, oluvannyuma lwa Stav Orland okufuna obuvune. Stav, amaze ebbanga ng'aliisa banne akakanja, obuvune yabufunidde mu mpaka za 'Monster Mammoth Motocross Championship', mu kibuga California mu Amerika, wiikendi ewedde.

Yafunye ekiwundu ku mukono ogwa kkono, era yamalidde mu kifo kyamunaana. Ekiwundu kino kiwadde abamu ku Bannayuganda essuubi nti bwe kataligirya, nabo ku luno bayinza okuwangula ku mpaka zino kuba Stav ayinza obutasobola kunyoola bulungi kiwuubiro kya ddigi, singa asalawo okuzeetabamu.

Omutendera gwa MX85cc mulimu; Waleed Ali Omar, Jonathan Muhindo, Jeremiah Mawanda, Shadia Kateete, Esther Mwangala, Milton Apollo Akaki, Habibu Kiggundu, Peter Magwa, Amina Zawedde Mayanja, n'abalala.

Bonna Stav amaze emyaka ebiri nga tabalabye ku njuba mu mutendera guno. Empaka zino za laawundi yakutaano ku kalenda ya ddigi, era zaakubeera Busiika ku Ssande eno. Zigenda kulagibwa layivu ku Urban TV, eya Vision Group, efulumya ne Bukedde.

SSEBUGUZI TAZIRIMU Mu ngeri y'emu, musaayimuto Gift Ssebuguzi agenda kuzisubwa oluvannyuma lw'okukyuka ekibegabega bwe yabadde atendekebwa. Maxime van Pee, kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga, yagambye nti Ssebuguzi yagwa era talina mukisa gwonna mu mpaka z'omulundi guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...