TOP

Museveni ayongedde abaamagye mu poliisi

Added 4th July 2019

PULEZIDENTI Museveni alonze abajaasi 4 n’abasindika mu poliisi okukulira ebitongole eby’enjawulo n’okutondawo ofiisi empya.

 DIGP Sabiiti (ku kkono) ne IGP Ochola

DIGP Sabiiti (ku kkono) ne IGP Ochola

Bano abongedde ku mumyuka w'omuduumuzi wa poliisi Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi naye gwe yaggya mu magye nga ye yali akulira poliisi y'amagye (Military Police) era nga yabakwasizza ebitongole bye balina okukulira n'alagira batandikirewo emirimu.

Abajaasi Pulezidenti Museveni be yasindise mu poliisi yabakwasizza ebitongole eby'enkizo mu poliisi omuli ekivunaanyizibwa okutendeka abaserikale, ekivunaanyizibwa ku nsonga z'abaserikale, ekirondoola obumenyi bw'amateeka, n'ekivunaanyizibwa ku nzirukanya y'emirimu mu poliisi.

Mu kiwandiiko ekyafulumuziddwa poliisi nga kiriko omukono gw'omuduumuzi waayo Martins Okoth Ochola nga July 2, 2019 eri abaserikale bonna yategeezezza nti Pulezidenti Museveni yalonze era n'asemba abajaasi bana era n'abawa ebitongole gye balina okukolera era nga bonna bali ku ddaala lya Assistant Inspector General of Police (AIGP).

Abajaasi Pulezidenti Museveni be yasindise mu poliisi kuliko;

1 Brig. Jack Bakasumba ng'ono yakwasiddwa obuvunaanyizibwa okukulira ekitongole ekivunaanyuizibwa ku baserikale (Joint Chief of Staff) nga ofiisi eno yayawuddwa okuva ku kitongole ekivunaanyizibwa ku nzirukanya y'emirimu mu poliisi. Ekitongole eky'okukulira abaserikale bonna kyatondeddwaawo okufaananako n'ekitongole ekikola emirimu gye gimu mu magye.

2 Brig. Godfrey Golooba ng'ono yalondeddwa okukulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kutendeka n'okubangula abaserikale ekibaddemu Haruna Isabirye eyasindikiddwa ku kitebe kya Uganda mu Amerika. Golooba obuvunaanyizibwa bwe agenda kubutandikirawo ku baserikale abapya 5,000 abagenda okutandika okuwandiikibwa okuyingira mu poliisi.

3 Col. Jese Kamunanwire yalondeddwa okukulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku nzirukanya y'emirimu mu poliisi ekibaddemu Hajji Moses Balimwoyo ng'ono yasindikiddwa okukulira ekitongole kya poliisi y'ensi yonna.

4 Col. Chris Sserunjogi Ddamulira yalondeddwa okukulira ekitongole ekikessi mu poliisi ekyakulirwako Col. Ndahura Atwooki eyakwatibwa ne Gen. Kale Kayihura ne bavunaanibwa mu kkooti y'amagye.

Col. Ddamulira yakulirako okulwanyisa obutujju mu kitongole ky'amagye ekikessi ekya CMI. SCP. Benson Oyo Nyeko abadde akola nga akulira ekitongole kya poliisi y'ensi yonna ( Interpol) yasindikiddwa ku kitebe kya poliisi egatta amawanga ku lukalu lwa Afrika mu ggwanga lya Algeria awaali waasindikiddwa Jonathan Baroza eyaliko omuyambi wa Gen. Kale Kayihura ate SCP. Aur Chombe abadde akola ng'akulira ekitongole ekikessi yasindikiddwa mu Interpol.

Enkyukakyuka zino we zijjidde nga waliwo okusoomoozebwa olw'ettemu erisusse mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo naddala abazigu b'emmundu okulumba abantu ne babakuba amasasi oluusi emisana ttuku.

LWAAKI ENKYUKAKYUKA ZINO ZIKOLEDDWA KATI

Emu ku nsonga ezivuddeko okuleeta abajaasi mu poliisi ly'ettemu erikudde ejjemnbe ensangi zino naddala ku basuubuzi aba Mobile Money era nga Pulezident Museveni yennyini yatuukako e Zana abazigu we battira omukazi Harriet Nalwadda n'omukozi we Monica Nambuusi.

Ensonda mu byokwerinda ziraga nti wabaddewo ebitatambula bulungi mu poliisi naddala ku nkola y'emirimu nga kino kyaviiriddeko Pulezidenti Museveni okulonda abajaasi n'abakwasa ebitongole eby'enkizo mu poliisi okulaba nga batereeza n'okulondoola emirimu.

AMAGYE GAJJA MU POLIISI

Pulezidenti yasooka kusindika Gen. Edward Katumba Wamala okubeera omuduumuzi wa poliisi n'addamu okusindika Gen. Kale Kayihura naye eyaleeta Col. Ndahura Atwooki okukulira ekitongole ekikessi n'addamu okusindika Maj. Gen Sabiiti Muzeeyi okumyuka omuduumuzi wa poliisi aliko kati.

Wabula enkyukakyuka mu bakulira ebitongole bya poliisi zibadde zisuubirwa kubanga abamu endagaano zaabwe bwe zaggwaako Pulezidenti teyazizza buggya ekyaviirako abamu okuwummula ng'abamu ku bano kuliko; Muky. Muwanga eyali ow'embeera z'abaserikale ba poliisi, AIGP Fredrick Kiyaga eyali asindikiddwa mu Djibouti, AIGP Dr. Fred Yiga eyali akulira ekitongole kya poliisi y'Ensi Yonna.

Kino kyaleetawo eddibu ddene nga tewali baserikale bali mu bifo byabwe Pulezidenti Museveni kwe kusalawo okusindika abajaasi abalala mu poliisi okwegatta ku Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi ne Col. Ham Kaija akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku nnyonyi za poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...