TOP

Eggwanga lirimu nnamuginga - Lukwago

Added 4th July 2019

LOODI meeya Erias Lukwago avumiridde ebikolwa by’abakulembeze ab’ebibiina eby’enjawulo okweyogereranga amafuukuule ekibaviiriddeko okukola ebikontana n’emiramwa gy’ebibiina byabwe.

 Lukwago (ku kkono) ng’abuuza ku Nambooze (ku ddyo) mu lukuhhaana.

Lukwago (ku kkono) ng’abuuza ku Nambooze (ku ddyo) mu lukuhhaana.

Lukwago okwogera bino yasinzidde mu ttabamiruka wa DP mu munisipaali y'e Mukono mu maka g'omubaka Betty Nambooze e Nabuti, eyabadde ategekeddwa okwekubamu ttooki ku bwe  bayinza okutereeza okusomoozebwa kwe basanze okuviira ddala mu kalulu ka 2016 ne bye bayinza okukola okwagazisa eggwanga ekibiina kyabwe.

Lukwago yategeezezza nti abamu ku bannabyabufuzi naddala ababaka ba palamenti ensangi zino bagufudde muze okusiiga bannaabwe enziro naddala eri pulezidenti n'ekigendererwa eky'okwagala okuyisaawo ebyabwe.

"Eggwanga lyaffe lirimu namuginga w'abantu abaakona mu nsonga z'ebyobufuzi be twetaaga okulwanyisa.

Tulina obuvunaanyizibwa naddala abakulembeze okukozesa obuyinza bwaffe okubeera ab'amazima  bwe tuba nga tukyatambulira ku mulamwa ogw'okukyusa ebyobufuzi by'eggwanga  ku mutendera omutuufu,"Lukwago bwe yagambye.

Ye omubaka Betty Nambooze yakuutidde Bannayuganda okuva mu tulo basobole okusalira eggwanga lyabwe amagezi.

Nambooze olukongoolo yalusibye ku bakulembeze bannakyemalira abantu be bateeka mu buyinza nga bano bagya n'ebigendererwa eby'okwekussa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu