TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazadde abasiba abaana enviiri ezitali za myaka gyabwe balabuddwa

Abazadde abasiba abaana enviiri ezitali za myaka gyabwe balabuddwa

Added 4th July 2019

Abazadde abasiba abaana enviiri ezitali za myaka gyabwe balabuddwa

ABAZADDE bakubiriziddwa okusibanga abaana enviiri eziggya mu myaka gyabwe nga kino kyakubawonya bassedduvutto okubasobyako nga balowooza bantu bakulu nga basibiddwa enviiri ez'abantu abakulu.

Bino byayogeddwa Omwami akuuma entebe ya Kaggo, Agnes Nakibirige Sempa ku mukolo e Bulange-Mmengo, abantu okuva mu maggombolola okuli Mutuba II Nabweru, Ssabaddu Kira, Ssabagabo Makindye Lufuka okuva mu Kyadondo wamu Kyampisi ne Goma agavudde e Kyaggwe kwebaletedde oluwalo lwaabwe oluwezezza ensimbi obukadde 38,420,000/-

"Abazadde mbasaba musibe abaana enviiri eziggya mu myaka gyaabwe kubanga bano abasajja ba sseduvutto besomye, bwebalaba omwana ng'asibiddwa enviiri eziringa ezange ng'alowooza nti mukulu munne bwatyo n'akozesa omukisa ogwo,"Nakibirige bweyasabye.

Ku mukolo guno, Katikkiro Charles Peter Mayiga yakikiriddwa minisita w'ettaka, obulimi ne Bulungibwansi, Hajjat Mariam Mayanja ng'ono yakubiriza abantu okwongera okubeera abegendereza mu bitundu byaabwe mu kiseera kino ettemu n'obubbi nga bikyase.

 

"Ekiseera kino kizibu ddala bwolaba engeri obutabi ng'ababbi batta owa Bodaboda. Kirabika twetaaga okuddamu okutukkiza enkola ya Ggwangamujje, abantu bavengayo okwetaasa mu mbeera ey'obuzibu. Edda Buganda yalinanga ekitongole ekikesi kirabika twetaaga buli muntu okuddamu okubeera omukesi okulwanyisa embeera eno," Hajjat Mayanja bweyategezezza.

Minisita Omubeezi Owa gavumenti ez'ebitundu e Mmengo,  asabye abaami mu buwereeza bwaabwe bafube okulaba ng'amasaza gaabwe nga gaddamu okututumuka nga bwegabeeranga edda.

Omukolo gwetabiddwako n'Omubaka Wa munisipaali ya Makindye Ssabagabo, Emmanuel Ssempala Ssajjalyabeene ,asabye Abaganda okukola kyonna ekisoboka okuyigiriza abaana baabwe kalonda yenna akwata ku Bwakabaka nga kino ky'ekimu ku binayamba okubukuuma.

AMAGGOMBOLOLA NGA BWEGALEESE OLUWALO:

Okuva e Kyaggwe: Mutuba IX Goma 6,290,000/- ne Mutuba III Kyampisi 1,520,000/-.

Okuva mu Kyadondo: Ssabagabo Lufuka 18,990,000/-, Ssabaddu Kira 8,725,000/- nga ku zino Omumyuka wa Ssabaddu Hajj Hassan Bulwadda yagguze satifikeeti za 500,000/- ate Mutuba II Nabweru 2,895,000/-

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...