TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Northern Bypass;Oluguudo olwafuuka empuku y'ababbi

Northern Bypass;Oluguudo olwafuuka empuku y'ababbi

ABATUUZE n’abakozesa oluguudo lwa Northern Bypass balaajanidde ebitongole ebikuumaddembe ku bumenyi bw’amateeka obweyongera buli lukya ne balaga ebifo ebirina okwongerwamu amaanyi.

 Ettaawo ly'e Nsooba - Kyebando ababbi mwe bagumba.

Ettaawo ly'e Nsooba - Kyebando ababbi mwe bagumba.

Bya MOSES LEMISA ne HENRY KASOMOKO
 
 
ABATUUZE n'abakozesa oluguudo lwa Northern Bypass balaajanidde ebitongole ebikuumaddembe ku bumenyi bw'amateeka obweyongera buli lukya ne balaga ebifo ebirina okwongerwamu amaanyi.
 
Oluguudo lwa Northern Bypass lutandikira Bweyogerere ne lugenda okutuuka e Busega luliko amataawo ag'enjawulo nga kati gaafuuka mpuku z'ababbi  emisana n'ekiro.
Abatuuze baategeezezza nti wakyaliwo obunafu mu bitongole ebikuumaddembe bye bagamba nti tebafuddeeyo kyokka nga lwandibadde lubeerako abaserikale n'emmotoka za paatuulo ezirawuna emisana n'ekiro.
 
Juma Ssenkaali yategeezezza nti okuva oluguudo luno bwe lwamalirizibwa abamenyi b'amateeka baalufuula mpuku yaabwe nga n'ababbira mu takisi lwe bakozesa.
 
Yagasseeko nti waliwo n'abaserikale abamanyiddwa abalina akakwate n'abamenyi b'amateeka nga babaggyamu ssente. ne babaleka ne batigomya abantu
 
"Tetulina poliisi kuba abaserikale baliwo kunoonya ssente tebafaayo ku bulamu bw'abantu ky'ova olaba ng'abantu beekyawa bwe bakwata omubbi bamusalira omusango, n'olugambo lungi mu baserikale tutya n'okubabulira abakyamu,' Ssenkaali bwe yategeezezza.
 
Musa Kintu yategeezezza nti ekiro babeera mu mayumba gaabwe ne bawulira emiranga ng'abantu balaajana  nga basaba obuyambi ng'okusinga batayiizza abatambuza ebigere ng'ekisinga okwewuunyisa abamenyi b'amateeka abamu baana bato ate abakulu tebakoma ku kubba wabula basobya ne ku bakazi.
 
Ate Joseph Mukwaya yagambye nti okuva ssaawa 2.00 ez'ekiro okudda waggulu bw'obeera omu tosobola kuwona babbi bano kuba nabo beefuula abatambuze n'ekigendererwa ky'okutaayiza ab'okubba.
 
Poliisi ky'egamba
Obotol Patrick atwala poliisi y'e Kawaala yategeezezza nti poliisi ekola nnyo okulaba nga bakendeeza obumenyi bw'amateeka ku Northern Bypass.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...