TOP

Balaamu ayogedde ebyamugoba ku kuwasa

Added 5th July 2019

Balaamu ayogedde ebyamugoba ku kuwasa

 Emu ku kalina za Balaam esangibwa e Naggulu mu katono ye Balaam

Emu ku kalina za Balaam esangibwa e Naggulu mu katono ye Balaam

SSAABAVVULU Balaam azze yeerandiza mpola. Ssente azikoze era musajja mugagga kyokka bw'omubuuza ku by'okuwasa akuddamu kimu nti sijja kuwasa, mukazi wange ze ssente era nazifuna. Mmwe gye munoonyeza amabeere ng'ategeeza bimaama nze mbeera nnoonya ssente.

Abantu bangi bavuddeyo ne banjogerako ku nsonga ezitali zimu nga ne bye basinga okwogera kwe kuba nti sirina mukyala wadde ng'obusobozi mbulina. ‘‘Ssebo, ssente zange ze nkoze sisobola kuziyingizaamu mukazi kunziba.

Eby'okuzaala abaana si kikulu nnina abasukka mu 38 ab'abalala be ndabirira era bampita taata''. Ekituufu kiri nti nasalawo okuwuula (obutaba na mukazi) oluvannyuma lw'okukizuula nti emirembe giri mu kuba na ssente. Ndaba abasajja bangi nga bagwirana n'abakazi olw'amabeere naye nze nfiira ku walleti.

Ensawo yange buli lw'ebeera ensanyufu ebisigadde saagala kumanya. Balaam bwe yafiirwa mutabani we Jonathan Tumusiime (kigambibwa ye mwana yekka gwe yalina) mu September wa 2016, oluvannyuma lw'okuziika, yayogera ku ky'okufuna omukyala amuzaalireyo omwanan'alagira mikwano gye Bebe Cool ne Iryn Namubiru bamunoonyeze omukyala wa kiraasi ye ow'okuwasa.

 alaam ngaliko byannyonnyola ulezidenti useveni Balaam ng'aliko by'annyonnyola Pulezidenti Museveni.

Kyokka bino birabika byakoma awo kubanga kati takyalina kirowoozo kya kuwasa. Yatuuse n'okubuuza nti "naye kati ddala omukazi waaki agenda okummalako emirembe n'okunjavuwaza? Nze mpase omukazi ensibe oba afune omusajja omulala amukwana balye ssente zange.

Nedda nedda ekyo sijja kikola kasita ne bafaaza abatawasa gye bali bantu era bali bulungi." Wadde nga kati talina mwana, Balaam agamba alina abaana 38 b'asomesa okuli 20 aba mukwano gwe enzaalwa y'e South Sudan eyattibwa ate abalala ba baganda be. BALAAM Y'ANI? Abasinga bamumanyi nga Ssaabavvulu olw'okutegeka ebivvulu naye amannya ge amatuufu ye Barugahara Balaam.

Mutabani wa Gladys Byenkya Abwoli n'omugenzi Balaam Byenkya.Yazaalibwa July 28, 1979 nga bali abaana munaana. OKUSOMA Wadde musajja muyivu ng'alina diguli bbiri ne Masters kyokka bwakunyumiza okutoba kwe yayitamu okusoma toyinza butamusanyukirako.

Taata we yafa nga baana bato maama waabwe n'asigaza obuvunaanyizibwa obubalabirira kyokka nga teyeesobola mu by'ensimbi. Fiizi zaabwe yali aziggya mu kufumba walagi. Embeera eno yawaliriza Balaam okutandika okunoonya ssente ku myaka emito okwesomesa kyokka olw'okuba yali mugezi,ebibiina ebimu baamuwanga bbasale n'asomera bwereere.

Okusoma yakutandikira: Namasagali Primary, Namasagali College , St. John Bosco Lubaga (gye yatuulira S4), Progressive Secondary School Bweyogerere (gye yatuulira S.6) oluvannyuma yeegatta ku MUBS gye yasomera diguli mu byobusuubuzi (BBA) wabula olw'okwagala okutuukiriza ekirooto kye eky'okukuguka mu bwa kitunzi, yagenda ku yunivasite e Makerere nasoma diguli endala mu BCOM.

Kuno yagattako Masters mu byobusuubuzi gye yasomera ku Cavendish University. KARUNGI MUKWANO GWANGE Wadde azze ayogerwako nti alina enkolagana ne munnamawulire Josephine Karungi era ateekateeka kumuwasa, Balaam agamba bonna be bamuteekako mikwano gye kubanga ye muntu w'abantu.

EBY'OBUGAGGA lKu myaka 40, Balaam musajja mugagga era yinvesita wano mu ggwanga n'ebweru. Agamba nti bizinensi ezisinze okumuwa ssente ennyingi mu bbanga ettono ziri South Sudan.

Wadde yakulira mu mbeera ya kyavu era yeeyisa ng'omuntu waawansi, asobodde okwerandiza n'afuuka omugagga bifeekeera. lNg'oggyeeko ebivvulu abasinga mwe bamumanyidde, Balaam alina kkampuni eziwerako omuli:

Balaam Marketing Agency, Balaam Events ey'ebivvulu n'emikolo, agula ettaka n'okuzimba amayumba, asuubula n'okutunda bbiya ne sooda era alina amaka n'ebizimbe ebipangisibwa mu bitundu bya Kampala eby'enjawulone South Sudan. lAlina ekyuma ekikola amazzi g'okunywa e Sudan ne bizinensi endala.

Alina leediyo wano ne South Sudan. Nga bwe batera okwogera ku bavubuka abalala abagaggawadde ku myaka emito nti ssente si zaabwe balina be bakolera, ne Balaam bangi bagamba nti kirabika alina baakolera kyokka ye agamba nti buli omu waddembe okwogera ky'ayagala.

BIZINENSI YAGITANDIKIRA MU PULAYIMALE

Balaam agamba ng'oggyeeko emikwano egizze gimuwanirira mu mbeera emu oba endala, yakuzibwa n'omutima omukozi ate tayagala bya kwejalabya. lYatandika okukola bizinensi mu pulayimale.

Yagendanga n'ekibbo ky'amenvu ku ssomero ge yaguzanga abaana ate awaka nga batyaba enku ne baziguza maama waabwe okufumbisa walagi. Ssente zino yaziterekanga nga bwe ziwera abaako ekinene ky'akola. lMu S5 ne S6 ku Progressive e Bweyogerere yatandika bizinensi y'okusuubula sooda n'omwenge n'abitunda mu mmotoka z'empaka.

Oluvannyuma yatandika edduuka eritunda sooda n'ebyokunywa ebirala e Ntinda oluvannyuma ye ne banne baakola ‘dippo' za sooda okuli n'eri ku National Theater mu Kampala. lKu yunivasite yayingira bizinensi y'ebivvulu kyokka akikkaatiriza nti ssente ezisinga azifunye Sudan.

 KARIM YE TAATA WANGE MU BYENFUNA

Kizibu Balaam okwogera ku bugagga bwe n'atayogera ku Karim Hirji. Agamba nti Karim ne Patrick Bitatule be bantu abaamusikiriza era bazze alabirako n'okumuyamba okukola bizinensi.

Nkolaganye n'abantu bangi abanyambye mu mbeera emu oba endala naye sirabanga musajja mulungi nga Karim Hirji. Yanjigiriza okukola ssente, okukuuma obudde, okubalirira, okuba omwerufu n'okumanya ebinyambye okufuuka kyendi. Karim yanzikiririzaamu nga nkyasoma ku yunivasite kuba yampa ssente ze nakozesa okutandika ezimu ku bizinensi zange.

Ettaka lye nasooka okugula okusimbako emiti e Masindi lyali lirye ate omwana wange bwe yalwala yanteekamu obukadde 100 okumujjanjaba.

OKWEYISA NG'OMUNAKU

lWadde ssente z'alina zimuyitaba, Balaam yeeyisa mu mbeera ya muntu waawansi era ggwe atamumanyi bw'omulaba oyinza okumuyita omuntu waabulijjo olw'ebintu by'akola ebitajja mu kiraasi ye.

lEkimu ku bisinga okutabula abamulaba gy'emijoozi gyatakyusa ne bw'abeera ku mukolo ogw'ebbeeyi nga banne bali mu masuuti ye abeera mu mujoozi. lMukubi wa lwali mulungi era oyinza okumusanga mu kafunda ng'anyumya n'abantu b'oyinza okuyita abawansi. Agamba nti bano batera okumuwa pulaani mwakola ssente.

Bwe kituuka ku mmere enjala w'emulumira waaliira ne bw'aba mu tonninnyira ate bwe gutuuka ku bizinensi yeekwatiramu. Bwe yabuuziddwa ku nsonga eno Balaam yagambye nti omutima gwe gumugamba kubeera bwatyo.

"Sirina kwegulumiriza kubanga bino bye tukola n'abamu ebibeewanyisa n'okweraga bya nsi bwe tufa bisigala wano''. Ekiri ku mutima gwange kuyamba bantu abatalina mwasirizi n'abali mu buzibu. Tojja kundaba mu bya kukyakala kubanga nze nkyakaza abantu ate kye mmanyi ku by'okucakala kitegeeza kulya ssente ze sirina.

OKUTANDIKA EBIVVULU N'EMIKOLO

lBino yabitandika akyasoma e Makerere. Yasooka kutegeka mwoleso gw'ebyobusuubuzi ogubeera ku yunivasite buli ntandikwa y'omwaka (Bazaar) n'empaka za bannalulungi ba yunivasite. lEbivvulu by'abayimbi yasooka kutegeka bya Paul Kafeero.

Ono yali mukwano gwe era ekitundu kya vidiyo ya Ddipo naziggala yagikwatira ku dduuka lye e Ntinda. SIRINA MPALANA NA ABTEX Bano bombi balina ekibiina ky'abategesi b'ebivvulu kye beegattiramu. Abtex (Abby Musinguzi) y'abakulira ate Balaam ssaabawandiisi kyokka bazze baneneng'ana era tebava mu ntalo za bigambo.

Balaam agamba nti ng'oggyeeko enjawukana mu byobufunzi, talina buzibu na Abtex era amwenyumirizaamu ng'omuntu gwe yayigirako n'okumwagazisa okukola bizinensi y'okutegeka ebivvulu.

Agamba yamuyamba nnyo ng'akyatunda bbiya ne sooda mu bivvulu era mwe yayigira n'okukwatagana n'abayimbi nabo abaatandika okumuwa emirimu. lMu by'obufuuzi nkolamu omulimu gwe nasomerera ogw'obwa kitunzi era mu kiseera kino ntunda Pulezidenti Museveni era nze pulomoota we. Mutaddemu ssente nnyingi okukola ennyimba ze empya mukaaga z'asuubira okutongoza ekiseera kyonna okuli: Tunyweze engule, Munywere tubakalakate, Tunyweze enkulaakulaana, tunyweze eddembe n'endala.

PULEZIDENTI YE PAASITA WANGE

Balaam agamba nti Museveni amwagala ng'omuntu era amutwala nga paasita we olw'enjiri y'okukuuma emirembe gy'abuulira. Yagambye nti ssinga yali amunoonyamu ssente, ssinga takyamukolera kubanga amubanja ssente nnyingi okuli n'eza kampeyini ezaggwa. Ebyuma bya Balaam Events kati bye bikola ku mikolo gya pulezidenti ng'atalaaga eggwanga.

Yayongeddeko nti abalumba Pulezidenti bavubuka abatayagala kukola. Bwe babawa ssente nga Museveni afuuka mulungi bwe ziggwaawo ng'afuuka mubi. Bwe yabuuziddwa oba okweyingiza mu byobufuuzi tekimukosa, yagambye nti ekyo tekimukanga era tebagenda kumuggya ku mulamwa.

"Njagala okubakakasa nti nze ne bwe bazira ebivvulu byange tebasobola kunjavuwaza kubanga ebivvulu si mwezigya ssente zange ezisinga era kati mbikola kunyumirwa kubanga n'obusente obuvaamu butono ku ssente ze nfuna. Ye ani akugambye nti abagenda mu bivvulu bonna ba People Power. Bwe baba tebaagala balekeyo ndaba naffe aba NRM tuli bangi tusobola okwewagira.

" BOBI WINE ‘KYALI WANGE' NAYE SIYINZA KUMUWAGIRA

Balaam yagambye nti nneewuunya abantu abannumba nti saagala Bobi Wine. Oyo mukwano gwange naye akimanyi kyokka ekitwawula byabufuzi era sisobola kumuwagira okutuuka mu 2040 awo tuyinza okukkiriza enkyukakyuka.

Ye obadde okimanyi nti nze nasooka okutegeka ekivvulu kye ekya ‘Badda'. Kati abo abalowooza nti bamwagala nnyo okunsinga beerimba.

BALAAM TAATA W'ABAYIMBI Ng'oggyeeko okubawa ssente ne bizinensi mu kutegeka ebivvulu, Balaam yafuuka taata w'abayimbi mu ggwanga gye baddukira naddala nga bafunye ebizibu.

Ayambye bangi mu kubasondera ssente, okubabuulirira, okubawola ssente n'ebirala. Agamba ekizibu ky'abayimbi abasinga butasoma, amalaala n'okwejalabya ebibalemesezza okukulaakulaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...