TOP

UCU etikkidde 1200 e Mukono-balabuddwa ku nguzi

Added 6th July 2019

Uganda Christian University (UCU) e Mukono yatikkidde abayizi 1234 mu matikkira ga yunivasite eno ag’omulundi ogwa 20.

 Abamu ku bayizi abaatikkiddwa nga bajaganya olw'obuwanguzi bwe baatuseeko.

Abamu ku bayizi abaatikkiddwa nga bajaganya olw'obuwanguzi bwe baatuseeko.

Amatikkira gano gaakulembeddwa cansala wa UCU era ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali so nga ssentebe w'akakiiko akabuuliriza ku ndoliito z'ettaka, Omulamuzi wa kkooti enkulu, Catherine Bamugemereire ye yabadde omugenyi omukulu.

Ku bayizi abatikkiddwa, 661 baabadde balenzi nga bakola ebitundu 54 ku 100 ng'abawala bali 573 nga bano bakola ebitundu 46 ku 100, ng'amatikkira gano gaabaddewo ku Lwokutaano.

Abayizi baafunye obukugu obw'enjawulo mu madaala okuli ddipulooma, ddiguli ssaako abo abafunye ddiguli ey'okubiri.

Ssaabalabirizi Ntagali yalabudde abaatikkiddwa ku muze oguliddennyo eggwanga nga bwe buluvu omuli mu bantu naddala abasomye nga buyitibwa okulya enguzi.

Yabategeezezza nti wadde basomeseddwa okukola era bafune obugagga, naye basaanidde okwegendereza ku ngeri gye balina okukolamu obugagga beewale okufuna obugagga obw'omusaayi ekkanisa bw'etakkiriza.

Ate Omulamuzi Bamugemereire yagambye nti naye eyo mu myaka gye 80 yafuluma mu Makerere yunivasite ng'atikkiddwa, ng'okwesiga Katonda kye kimu ku bimusobozesezza okuweereza eggwanga n'ayita mu bikemo enkuyanja ebijja gy'ali buli lukya nga ne kye yagaanira ddala okukola kwe kulya enguzi.

Yagambye nti yalayira okuweereza eggwanga naddala abantu abalina obwetaavu n'abawejjere nga talina kyekubiira wadde okulya enguzi okwandimuleetedde okunyigiriza abantu ab'oludda olumu olw'okweyagaliza eby'enfuna.

Yategeezezza nti wadde bangi ku bayizi abaatikkiddwa babadde mu bulamu obwetooloddwa olukomera olw'abazadde, abasomesa n'abantu abalala ababadde babalabirira, oluvannyuma lw'okutikkirwa boolekedde ensi etaliiko agenda kubakomako, wabula nga bbo bennyini be balina okwekomako.

Ye amyuka cansala wa UCU, Rev. Canon Dr. John Senyonyi yasabye abaatikkiddwa okwewala emikwano egy'okubatwala mu kwonoona egiyinza okubasuula mu bikemo mu bwangu wabula beekwate kw'abo bokka ab'omugaso gye bali nga ne Katonda bamuteeka ku mwangyo mu bulamu bwabwe.

Mu baatikkiddwa mwe mwabadde n'omuyizi Irene Amuno eyafunye ddiguli mu by'eddiini naye ng'okutikkirwa yabadde atambulira ku miggo.

Amuno yagambye nti ng'ebula omwezi gumu okutikkirwa kutuuke, yafune akabenje ng'avuga pikipiki e Kitgum ng'agenda mu kkanisa okuweereza n'afuna ebisago naye nga wadde yabadde mu bulumi, yabadde n'essanyu nti Katonda yamusimattusa akabenje n'asigala nga mulamu.

Mu balala abaatikkiddwa mwe mwabadde n'omukozi wa New Vision John Semakula awandiikira empapula za Weekend ng'ono afunye diguli ey'okubiri mu mawulire.

Ne muwala w'omu ku basunsuzi abakulu aba New Vision, John Kakande, nga ye Dinah Nambi naye yafunye diguli mu mateeka. Nambi yagambye nti okusoma nga kuwedde, ayolekedde okugenda ku LDC ate afune ebisaanyizo ebirala okusobola okuweereza nga munnamateeka omujjuvu kyokka n'agamba nti tatidde kuba ng'okuvuganya eno kwamaanyi nnyo.

Ye John Kakande naye yawadde abaatikkiddwa amagezi okubeera abakkakkamu era baleme kuggwamu maanyi ng'oli ne bwanoonya omulimu gw'asomye ne gubula, tekigaana kusooka kubaako ky'akola kirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...

Police FC eyongedde okwenyweza

MU KAWEEFUBE wa Police FC ezannyira mu Star times Uganda Premier League okwetegekera sizoni ejja 2020/2021, basonjodde...