TOP

Bagenda kuwandiisa aba LDU 13,000

Added 6th July 2019

EGGYE lya UPDF lirangiridde nga bwerigenda okuddamu okuwandiisa abaserikale ba LDU abalala 13,000 okuva mu disitulikiti ezirondeddwaamu mu bitundu by’amasekkati, obuvanjuba, obukiikakkono, n’amasekkati g’obugwanjuba.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyateekeddwaako omukono gw'omwogezi w'eggye ly'oku ttaka Lt. Col Henry Obbo, okuwandiisa aba LDU kugenda kutandika nga July 15 okutuusa July 31, 2019.

Ekiwandiiko kigamba nti okuwandiisa abaserikale bano kugendereddwaamu okwongera okunyweza ebyokwerinda mu ggwanga nga bakuuma bannansi n'ebintu byabwe.

Era aba LDU bano bagenda kutendekebwa ebyekijaasi mu matendekero g'amagye okumala emyezi ena era bwe banaamaliriza bazzibweyo okukuuma ebitundu bya disitulikiti zaabwe gye bava okwongera okunyweza ebyokwerinda.

Abagenda okwewandiisa baabataddeko obukwakkulizo okuli : Okubeera Munnayuganda, ng'olina densite y'eggwanga eri oligino, ng'olimulamu bulungi era omwetegefu okukeberebwa obwongo n'omubiri gwonna gattako okudduka emisinde egy'okwetooloola ebyalo kisobozese okukakasa nti oli ffiiti bulungi.

Akakwakkulizo akalala, omusajja oba omukazi yenna agenda okwewandiisa olina okubeera wakati w'emyaka 18 ne 35 era nga wasomako n'otuuka mu kibiina kya P.7 ekitono ennyo n'okugendera ddala obutasukka S4.

Buli eyeewandiisa olina okubeera n'ebbaluwa ya ssentebe wa LC1 ku kyalo gy'ova ng'ekusemba gattako eya PISOs ne GISOs nga zonna ziriko emikono gy'abakungu bano.

Olina okubeera omutuuze w'omu kitundu mw'ova nga tolina mpisa mbi gamba ng'okwenyigira mu buzzi bw'emisango. Tolina kubeera na mulimu walala gw'okola.

Era anaakwatibwako ng'ajingiridde ekiwandiiko kyonna ekimukwatako akimanye nti musango era ajja kuvunaanibwa mu mbuga z'amateeka.

Okulangirira okwewandiisa kuno kugenda kubeera mu mpapula z'amawulire eza wano ng'ebirango bye bimu byatandise dda okuyita ku mikuttu gya leediyo ez'enjawulo nga bategeeza ebitundu ne disitulikiti ezigenda okuwandiisa aba LDU bano 13,000.

Ebiwandiiko bye bimu bitimbiddwa ku bitebe bya disitulikiti ne ku magombolola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...

Mutabani wa Nabbi Kakande a...

OMUBUULIZI Mugoda asabye abantu okukomya okukudaalira abafu nga beefuula abanyoleddwa ku nkugulu nga munda basanyufu...