TOP
  • Home
  • Aga wiiki
  • Aba Namilyango Junior Boys School banoonya buwumbi ez'ekizimbe

Aba Namilyango Junior Boys School banoonya buwumbi ez'ekizimbe

Added 6th July 2019

Abaasomerako mu Namiryango Junior Boys School basonze bukadde okumaliriza ekizimbe ekikyabanja obuwumbi.

Abayizi n'abaasomerako mu Namilyango Junior Boys School nga basala keeki

Abayizi n'abaasomerako mu Namilyango Junior Boys School nga basala keeki

Bya Madinah Sebyala

Abaasomerako mu ssomero lya Namiryango Junior Boys School basonze obukadde 14 ku buwumbi obubiri obwetaagibwa okumaliriza ekizimbe eky'emyaliriro esatu kye bazimba mu kiseera kino ku ssomero.

Ekizimbe kino kyakumalawo buwumbi, era ku ssente ezaasondeddwa kuliko ez'obuliwo n'eziri mu bisuubizo.

Mu baasomerako ku ssomero lino mwe muli n'eyaliko omusawo wa ttiimu y'eggwanga Uganda Cranes, Dr. JB. Ntege Ssengendo ng'ono yaliyo eyo mu gya 1949.

 r  tege sengendo ku  kkono nakulira essomero lya amiryango oys unior chool r mmaculate abukalu ku mukolo gwokusonda ensimbi ezokuzimba Dr. JB. Ntege Ssengendo (ku kkono) n'akulira essomero lya Namiryango Boys Junior School, Sr Immaculate Nabukalu ku mukolo gw'okusonda ensimbi ez'okuzimba.

 

Omukulu w'essomero lino, Sr. Immaculate Nabukalu yabeebazizza kyokka n'asaba abazirakisa abalala okubadduukirira ku mulimu gwe baliko nga kati beetaaga obuwumbi bubiri.

Yayongeddeko nti, ekizimbe kye bazimba kya myaliriro esatu nga kugenda kubeerako ebibiina, ofiisi y'omukulu w'essomero n'abasomesa, etterekero ly'ebitabo n'ekifo abasomesa n'abayizi we bagenda okukolera okunoonyereza ku bisomesebwa n'ebigenda mu maaso mu ggwanga ne mu nsi yonna.

Yayongeddeko nti, mu kusooka baasonda ssente ezisoba mu kawumbi kalamba era nga guno gwabadde mulundi gwakubiri wabula tebyagenze bulungi kyokka ate we batuuse gwe mulimu ogusinga amaanyi n'asaba abantu okumukwasizaako okulaba nti ekizimbe bakimaliriza mu mwezi gwa October omwaka guno nga bagendera ku ndagaano gye baakola ne kkampuni enzimbi eyapatana omulimu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....