TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri essimu ya Ssebuufu gye yamuyiyeeyo mu musango gw'okutta Katusabe

Engeri essimu ya Ssebuufu gye yamuyiyeeyo mu musango gw'okutta Katusabe

Added 8th July 2019

Engeri essimu ya Ssebuufu gye yamuyiyeeyo mu musango gw'okutta Katusabe

 Ssebuufu (wakati) lwe baamusindise e Luzira nga ogw’okutta Katusabe gumumezze.

Ssebuufu (wakati) lwe baamusindise e Luzira nga ogw’okutta Katusabe gumumezze.

Paul Tasingika yategeeza kkooti nti omwaka 2015 yali avuga sipensulo kyokka emabegako yali avuga kasiringi awo ku CPS. Olunaku lwa October 17, 2015 eyali DPC Aaron Baguma yamulagira atwale Kiwanuka Damage n'omuserikale wa poliisi Annette Tusiime e Bwebajja wabula baali batuuka mu kkubo Kiwanuka n'amulagira baddeyo gye baali bava kubanga gwe baali bagenda okunona yali taliiyo.

Enkeera Tasingika yaddayo n'anona Tusiime ne basisinkana Kiwanuka ku Freedom City nga bali n'omuntu omulala ne bagenda mu maka ga Katusabe kyokka teyaliiyo. Olwa October 20, 2015 Baguma yamulagira okugenda e Bwebajja baggyeyo omukazi wabula yalemererwa kubanga yalina bakasitoma abalala.

Nga October 21, 2015 Bbirikkadde yamuyita ne bagenda e Bwebajja. Olwatuukayo ne beeyanjula ku poliisi olwavaawo ne bagenda mu maka ga Katusabe ne bamukwata nga bamuvunaana okubba emmotoka Prado TX. Wabula Kiwanuka ne CPL Tusiime baabasisinkana ku poliisi e Katwe.

Nga bali mu mmotoka okugenda ku CPS, Katusabe yasaba bagende ku ofiisi ya Kiwanuka ku CPS bamalirize ensonga bwe batyo ne bakyusa okugenda ku ofiisi ya Kiwanuka ku Pine.

Ku ssaawa nga 3:00 ku makya, Ssebuufu yajja era Katusabe n'ategeeza nti emmotoka gye bamubanja yagitunda e Congo wano we yasinziira n'asaba Ssebuufu amuwe kaadi ya mmotoka gye yamuguza asobole okugisingira Kiwanuka.

Ssebuufu yabategeeza nti yali agenda mu kkooti n'avaawo era ne Tasingika olwamala okumusasula n'avaawo. Newankubadde baayaza amaka ge ne basangayo essimu enkadde nnya era n'ateeka omukono ku satifikeeti ekkiriza nti baazizza ewuwe, naye ku lukalala lw'ebintu bye baasangayo baayongerako empingu ezitaaliyo. Era yeegaana nti ssi mukuumi wa Ssebuufu.

Yoweri Kitayimbwa ne Damaseni Sentongo baasalawo okukozesa eddembe lyabwe eribaweebwa Ssemateeka ne basirika, tebaanyega kigambo kyonna. Shaban Odutu eyeeyita Golola mu bujulizi bwe yategeeza nti yali yeetikka migugu ku Nabugabo.

Yeegaana emisango gyonna nti ye tabeerangako ku Pine, era tabeerangako kanyama wa Ssebuufu. Yategeeza nti aba Flying Squad baamukwatira ku kisaawe e Namung'oona ne bamutwala ku CPS, baamutulugunya ne bamugatta ku misango gino. Abavunaanibwa bonna tabamanyi era yali tayogerangako nabo.

OBUJULIZI BWA OFIISA KU SSEBUUFU Specioza Nyanzi, omuserikale wa poliisi eyawerekera abaagenda mu maka ga Katusabe okumukwata yakakasa kkooti nti olwamuleeta mu Kampala baamutwala ku Pine bamalirize ensonga n'omugagga gwe yalumiriza nti ye Muhammed Ssebuufu.

Omujulizi omulala Peter Tumusiime yategeeza kkooti nti yagenda ku kibanda ky'emmotoka ku ssaawa nga 10:00 olweggulo ng'akolera ku biragiro bya mukama we Amon Twesigye eyali amutegeezezza nti Ssebuufu yali mu kutulugunya Katusabe.

Bwe yabuuza wa w'ayinza okusanga Ssebuufu, yamusanga ayimiridde ku mabbali n'abasajja abalala. Bwe yamweyanjulira yamukulemberamu okumutuusa mu kasenge mwe baali bakuumira omugenzi.

EKIBAMBULIRA SSEBUUFU KYE YATUUSA KU LOOYA WA KATUSABE

Omugenzi baamusanga atudde wansi ku seminti nga tali mu ngatto n'engoye ziyulise, yalina ebinuubule mu kyenyi ne ku magulu ng'abasajja mukaaga abaali balabika nga baamaanyi bamwetoolodde.

Katusabe bwe yagezaako okunnyonnyola Tumusiime engeri gye baamuwamba okuva mu maka ge, Ssebuufu n'amusamba mu ndira n'alagira basajja be okumukuba n'okumusamba.

Omujulizi ayongerako nti yasaba Ssebuufu balekere awo okutulugunya omugenzi kubanga yali akola ku nsonga z'okubasasula, Ssebuufu n'amwanukula nti ssinga ziwera ssaawa emu akawungeezi nga tebannaba kumusasula, Katusabe baali bajja kusanga nga mufu. Munnamateeka Annet Kobusingye yakakasa kkooti nti ye yatuma Tumusiime ku Pine azuule kiki ekyali kikolebwa ku mugenzi.

Ng'oggyeeko ebyo, yafuna essimu emukubirwa okuva ku nnamba 0752198368 ng'eddoboozi lya musajja n'amutegeeza nti "bah− hambye nti gwe munnamateeka w'ono omukazi wabula bwe mutansasula 9,000,000/- hhenda kumutta. Omujulizi oluvannyuma yawulira okubwatuka ng'omuntu gwe bakubye oluyi n'eddoboozi ly'omuntu aleekaana ng'alaajana.

Yakuba ennamba ya poliisi 999 okulaba nga bataasa omugenzi ne bamutegeeza nti ensonga baali bagimanyi bulungi ng'ekolwako poliisi ya CPS. Essaawa nga zigenda kuwera emu akawungeezi yasituka n'omuyambi we Jane ne bagenda ku Pine kyokka bagenda okutuukayo ne babategeeza nti omugenzi baali bamututte ku CPS ng'ali ne Tumusiime. Ng'atuuse ku CPS baamutegeeza nti ensonga baali bagikolako ne bamulagira addeyo enkeera awandiike sitetimenti.

Omujulizi Amon Twesigye naye yalaba Ssebuufu mu kifo we battira Katusabe. Bwe baakuhhaanya abantu yasobola okumusongako era ne bwe yajja mu kkooti okuwa obujulizi yamusongako nti y'oyo gwe yalaba.

Yategeeza nti ku ssaawa nga 11:00 akawungeezi nga munnaabwe Kobusingye akomyewo ku poliisi okuva ku Pine, yabannyonnyola engeri omugenzi gye baali bamutulugunyamu.

Waliwo essimu eyamukubira n'ateeka essimu mu ddoboozi eriwulirwa buli muntu omusajja eyali ayogera ku ssimu n'ategeeza nti yalina omuntu waabwe ku Pine n'abalagira bamusasule nga tezinnaba kuwera ssaawa emu akawungeezi oba si ekyo bajja kusanga mufu era yali ayogera mu Luganda.

Baamuwa amagezi atwale omugenzi ku poliisi, yayanukula abavuma n'asalawo okuteeka omugenzi ku ssimu ng'akaaba alaajana bwe bamutulugunya. Kabangali ya poliisi yagenda ku Pine ne basangawo abantu bangi era Ssebuufu olwalaba Twesigye n'amubuuza kiki kye yali ayagala. Bwe yamutegeeza nti agoberera nsonga za Dona, Ssebuufu yamubuuza kimu oba yali aleese ssente ze.

Ekyaddirira yali Ssebuufu kuwamba densite ya Twesigye n'amutegeeza nti yali agenda kumulaga essomo kubanga balooya baali batwala Ssebuufu ng'eky'okuzannyisa. Mu ddoboozi ery'omwanguka Ssebuufu yakoowoola erinnya "Golola". Wano abasajja bana baayanguwa okufubutukayo ku ofiisi ye ne beetooloola Twesigye.

Baamusika ebitogi n'okumukwata jjeeke nga bamuyisaamu ebikonde n'empi, bwe yeegayirira Ssebuufu n'alagira bamuleke olwo ne bakuba essimu ne bagimuwa ayogere n'omuntu eyalikoTeyamweyanjulira wabula yamutegeeza kimu nti baali bakooye balooya abagenda nga bawolereza n'okutaasa abantu ababba mmotoka zaabwe.

Olwava kw'ekyo, Ssebuufu n'akuba essimu endala n'ayogera nti "Kiwanuka looya omulala wuuno wano yogera naye." Twesigye bwe yeeyanjulira omuntu eyali ku ssimu n'amutegeeza nti yali azze balabe ng'ensonga bazimaliriza kwe kumwanukula nti yali akooye balooya era awo yali tagenda kuvaawo.

Kubanga n'emmotoka yaabwe endala Prado TX baali bagibbye kyokka balooya bawolereza babbi. Twesigye yali akyagenda mu maaso ng'annyonnyola, Ssebuufu n'amukwakkulako essimu n'alagira bakanyama bamutwale emmanju bamujjanjabe.

Bakanyama baamusitula ne bamuwalaawala nga bamutwala emmanju nga bwe yeegayirira Ssebuufu nti yali tagenzeeyo kulwana wabula kulaba ngeri ki gye bamalirizaamu ensonga.

Abantu abaaliwo nga balaba ebigenda mu maaso n'abaserikale abaali bazze ne babuuza Ssebuufu lwaki yali akubidde bakama baabwe bw'abeera nga yali tayagala poliisi eyingire mu nsonga.

Ssebuufu yalagira abaserikale bakwate Twesigye ne bamutwala mu kasenge omwali omugenzi. Yamusanga atudde wansi. Omugenzi yali munafu nnyo nga tasobola kuyimirira, omuserikale wa poliisi omukyala yamukwatirirako ne batambula okufuluma abasajja ne batwala Twesigye.

Ssebuufu yasooka kugaana kubawa ntambula ebatwala ku CPS oluvannyuma n'abalagira bakozese Premio eyali ku bbali awo era yavugibwa Steven Lwanga, Golola n'atuula mu maaso ku ludda olulala. Essaawa zaali nga 12:30 akawungeezi olwatuuka ku CPS ne basimba mmotoka mu mulyango oguyingirayo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...