TOP
  • Home
  • Amawulire
  • FDC ekkukkuluma lwa Gav't kulemesa Besigye okwogerera ku leediyo z'omu byalo

FDC ekkukkuluma lwa Gav't kulemesa Besigye okwogerera ku leediyo z'omu byalo

Added 8th July 2019

FDC ekkukkulumidde poliisi n’ebitongole by’ebyokwerinda olw’omu gw’okulemesa COL. Kiiza Besigye n’abakungu b’ekibiina kino abalala okwogerera ku leediyo z’ebweru wa Kampala ne bagamba nti tekikomye ku kulemesa kibiina kusasaanya ‘’njiri’’ yakyo wabula n’okuyingirira eddembe ly’ebyamawulire.

Omumyuka w'omwogezi wa FDC John Kikonyogo yagambye nti ba RDC mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu beeyambisa poliisi n'ebitongole by'ebyokwerinda okulemesa abakungu b'ekibiina kino okwogerera ku leediyo z'omu byalo, pulogulaamu ne bwe kiba kimaze okuzisasulira.

Kikonyogo yagambye nti Besigye n'abakungu b'ekibiina abalala babadde mu kutalaaga bitundu bya West Nile ebitali bimu kyokka nga buli leediyo we bagenda babalemesa okwogera.

‘'Ebyembi tuba tumaze okusasula leediyo zino ensimbi 1,600,000/- okuzoogererako.

Kyokka muba muli awo ng'abaserikale bajja nga bazeetoolola nga batugaana okwogera'' Kikonyogo eyabadde ayogerera mu lukung'ana lwa bannamawulire e Najjanankumbi mu Kampala bwe yagamye.

Yategeezezza nti leediyo zino zeesanga mu mbeera y'okuddiza aba FDC ssente nga kino kikosa nnyo enfuna yazo.

Yeebazizza ekibiina kya UPC olw'okukiriza okukolera awamu ne FDC mu kulonda kw'ebifo ebitali bimu okugenda maaso mu West Nile (UPC) bwe yagaanyi okusimbawo bantu baayo kuvuganya (FDC).

Ku nsonga ya Pulezidenti Museveni okusomooza ab'oludda oluvuganya obutalinda kuggya mu buyinza balyoke balowooze ku by'okuyamba abantu, Kikonyogo yagambye nti ye mu FDC gyali waliwo ebintu bingi by'akozeewo okukyusa embeera y'obulamu bw'abantu naddala okutumbula eby'omuzannyo gwa Chess.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakooza Mutale ng'aliko byannyonnyola.

Enkwe za bamanisita ze ziwa...

MAJ. Kakooza Mutale awabudde Pulezidenti Museveni ku nsonga ezaamuwanguzza mu Buganda n'awakanya abakissa ku busosoze...

Balumirizza Cameroon eddogo

KATEMBA yalabikidde mu mpaka za CHAN eziyindira mu ggwanga lya Cameroon, omutendesi wa Zimbabwe, Zdravko Logarusic...

Pasita Musisi n’abazannyi ba Busiro abaasoose mu kkanisa ye e Kaggala, Wakiso ku Ssande.

'Ababaka mulwanirire emizan...

PASITA Paul Musisi, akulira ekkanisa ya Caring Heart Ministries e Kaggala mu Wakiso adduukiridde ttiimu y’essaza...

Abavubuka ba Yellow Power.

Aba Yellow Power baagala Ka...

ABAVUBUKA b'ekisinde kya Yellow Power mu NRM, nga bano bakola gwa kukunga bantu, baagala Ssaabawandiisi  w'ekibiina...

Omuteebi wa Busiro, Usama Arafat ng’asindirira ennyanda ku ggoolo ya Kyaggwe gye yawangula 2-1 mu gy’ebibinja. Eggulo, Busiro yakubye Mawogola 1-0 eggulo okwesogga semi.

Busiro ne Bulemeezi ziri ku...

BULEMEEZI ne Busiro zifungizza okuwangula ekikopo ky'omupiira eky'Amasaza ga Buganda. Bulemeezi yatimpudde Busujju...