TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Famire etabukidde UPDF ku muntu waabwe eyattiddwa

Famire etabukidde UPDF ku muntu waabwe eyattiddwa

Added 8th July 2019

Famire etabukidde UPDF ku muntu waabwe eyattiddwa

 Abooluganda lw’omugenzi nga batudde we baamuziise..

Abooluganda lw’omugenzi nga batudde we baamuziise..

ABOOLUGANDA lw'omutuuze w'e Bukomero mu disitulikiti y'e Kiboga bakiikidde eggye lya UPDF ensingo nga babanenya olw'okuttibwa kw'omuntu waabwe.

Bano baagala gavumenti erabirire bamulekwa omusanvu okuli ne bbebi ow'emyezi ena omugenzi gwe yalese.

Omugenzi Gordon Kizito Beliisa, yakubwa essasi bwe yali ng'alima mu nnimiro ye ku kyalo Kibanda ekiri mu ggombolola ye Bukomero mu disitulikiti ye Kiboga. Essasi eryamukubiddwa kigambibwa nti lyavudde mu bajaasi abaabadde mu kutendekebwa, abaabadde beegezaamu mu kukuba ssabbaawa wabula ne liwanattuka gye batendekebwa ne litta Kizito.

Abooluganda balumiriza nti abaserikale b'eggye lya UPDF okuva mu nkambi y'e Ssingo eri mu ggombolola y'e Kapeke mu disitulikiti y'e Nakaseke be baakuba omuntu waabwe amasasi agaamuttirawo.

Ggombolola y'e Kapeke esalagana n'eye Bukomero. Lydia Nansubuga, ssenga w'omugenzi agamba nti mutabani we yalese abaana musanvu nga omu muwere wa myezi ebiri. "Bwe twamaze okuziika ne tusoberwa eky'okukolera abaana kubanga nze sisobola kubalabirira ate awaka tewasigadde muntu.

Tusazeewo tubagabane bonna yadde tewali buyambi," bwatyo Nansubuga bwe yagambye.

N'agattako nti "Mwannyinaze abadde alwana nnyo okulabirira abaana be naye bw'aba afudde mu ngeri etategeerekeka, abaamusse batandikire awo. Si kya bwenkanya okuleka abaana bano baboneebone," bwe yagambye. Yasiimye abaserikale ba UPDF olwokubeerawo mu kuziika omugenzi kyokka n'agamba nti kino tekimala, balina okulabirira abaana b'omugenzi. Wabula bwe twagezezzaako okwogera n'omwogezi wa UPDF Brig. Richard Karemire essimu ye yavuze nga tewali agikwata. Nansubuga abadde abeera ku kyalo kye kimu eky'e Kikooba ekiri mu ggombolola y'e Bukomero mu disitulikiti y'e Kiboga.

We twatuukidde mu gabadde amaka ge ng'ennyumba n'e kiyungu biggale, nga kiraga nti tewali muntu nomu. Nansubuga yagambye nti bbo nga famire balinze kulaba UPDF bw'erabirira abaana bano kubanga bo tebalina busobozi bwonna. "Twandibadde tulaba ekikolebwa eky'amaanyi olw'omuntu okumala gattibwa bwatyo. Abaana be balabirirwe kyokka ne famire yonna eriyirirwe," bwatyo bwe yagasseeko.

Joyce Kaidu, muliraanwa we ate nga nnyina omuto yatutegeezezza nga bwe baasaliddewo awamu nga famire nti abaana bonna babagabane, nga bwe banoonya obuyambi.

Mu kuziika omugenzi, UPDF yasindikayo ababaka baayo okuva mu nkambi y'e Ssingo nga baawadde ebimu ku byakozeseddwa mu kuziika omwabadde kkeesi omwaziikiddwa omugenzi, ensawo 50 ez'akawunga, kiro (40) ez'omuceere, emiti gya ssabbuuni ebiri, liita ssatu ya butto n'amabugo emitwalo 50

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku bookya enkoko e Wandegeya nga balaga obukonge bwa Gabula Ssekukkulu bwe bajjuzza.

Abookya enkoko e Wandegeya ...

ABOOKYA enkoko e Wandegeya nga bakulembeddwa Mustafa Kafeero beebazizza kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde...

Agamu ku mayumba agaagudde ku Kaleerwe. (Ekif. Moses Lemisa)

Enkuba egoyezza ab'e Kawempe

ENKUBA eyatonnye ng'erimu kibuyaga ebambudde amabaati ku bizimbe mu munisipaali y'e Kawempe. Abatuuze b'e Kyebando,...

Pulezidenti Museveni.

Bobi asookera Buliisa, Muse...

Yoweri Kaguta Museveni agenda kubeera Sironko.  Robert Kyagulanyi Ssentamu ali Buliisa, Kiryandongo n'e Masindi....

Muzeeyi n'omukyala nga banyumya. (Ekif. Eria Luyimbazi)

Ono Muzeeyi abaza kaki?

Omusajja mukulu ono twamuguddeko mu kibuga Kampala ku kizimbe kya Gazaland ng'aliko omukyala gwanyumya naye. Omukyala...

Diego Maradona

Diego Maradona eyaliko kafu...

Ensi yonna eri mu kukungubaga lw'okufa kw'eyaliko kafulu mu kucanga akapiira mu nsi yonna Diego Maradona afudde....