TOP

Owa Bannakaloli aziikwa leero

Added 8th July 2019

Owa Bannakaloli aziikwa leero

 Bro. Mugarura

Bro. Mugarura

OMULAMBO gw'abadde akulira Bannakalooli mu ggwanga Br. Nobert Emmanuel Mugarura gwatuusiddwa e Kiteredde e Kyotera gy'agenda okuziikibwa olwaleero. Gyabadde miranga na biwoobe ng'omulambo gutuusibwa eggulo ku Ssande ku kitebe kya Bannakalooli e Kyotera.

Waabaddewo abantu ab'enjawulo naddala bannaddiini mu ssaza ly'e Masaka n'abantu baabulijjo nga beewuunaganya ku ngeri ey'obukambwe gye yattiddwaamu. Omubaka Babirye Kabanda y'omu ku bakungubazi abaatuuseeko ku kitebe ky'Abannakalooli n'asaasira ku bakulu okwabadde Omumyuka wa Ssenkulu Br. Izidooli Luyiinda ne Br. Domic Kagoye n'abalala abaamuttottoledde embeera gye balimu.

Bannakalooli baasambaze ebyabadde biyitingana ng'okuttibwa bwe kwabadde kwekuusa ku kuba nti yabadde n'ensimbi obukadde 200 ze yabadde agenda okugulamu emmotokka empya ekika kya Kluger.

Br. Kagoye ne Br. Luyiinda bategeezezza nti tewali nsonga yabadde emuguza mmotoka kubanga yabadde alina mmotokka ya Kluger empya era gye yagenderamu nagireka ng' agisimbye e Lubaga naalinnya bodaboda olwokewala jjaamu ng'agenda okusisinkana Robert Asiimwe agambibwa nti ye yamusse.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....