TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa Mobile Money bamusse mu ntiisa-bamusaze bulago nga mbuzi.

Owa Mobile Money bamusse mu ntiisa-bamusaze bulago nga mbuzi.

Added 9th July 2019

Owa Mobile Money bamusse mu ntiisa-bamusaze bulago nga mbuzi.

 Poliisi ng'eggyawo omulambo gw'awa Mobile Money eyattiddwa

Poliisi ng'eggyawo omulambo gw'awa Mobile Money eyattiddwa

Ng'eggwanga likyagenda mu maaso n'okufuna ettemu naddala erikolebwa ku bakozi ba ‘Mobile Money' nga battibwa mu ngeri ey'entiisa, ekyalo Kapeke mu ggombolola y'e Nama mu disitulikiti y'e Mukono kyaguddemu entiisa abatuuze bwe baakedde okugwa ku mulambo gw'omukozi mu dduuka lya ‘mobile money' nga yattiddwa mu bukambwe obw'ekitalo.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti omugenzi y'abadde Rebecca Namuganyi (25) ng'abadde akola mu dduuka lya Winifred Nakanjakko.

Owoyesigyire yagambye nti poliisi yayitiddwa ku Lwokubiri ku makya ng'abatuuze bagitegeeza nga bwe waabaddewo omuntu eyabadde atemuddwa ng'okutuukayo baasanze nga Namuganyi yattiddwa abantu abatannamanyika mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri. Agambye nti bagguddewo omusango gw'obutemu ku ffayiro nnamba SD09/09/07/2019 ng'omuyiggo gw'abaakoze ettemu lino bwe gugenda mu maaso.

Okusinziira ku ssentebe w'ekyalo, Godfrey Nkumbi, yategeezezza nti Namuganyi yazuuliddwa baliraanwabe abaakedde ku makya nga balaba taggulawo bwe baagezezzaako okuyita nga tebawulirayo kanyego.

Nkumbi yagambye nti bano bakungaanye okugenda ku luggi olw'emmanju baagenze okulaba nga terwaggaliddwa kwe kugezaako okulingiza nga bamulengera yeebase ku buliri abikkiddwa bulangiti naye nga teyenyeeya.

 

Yannyonnyodde nti bano bwe baayingidde okwetegereza kwe kusanga nga yattiddwa n'ateekebwa ku kitanda ne bamubikka olwo abazigu ne babulawo.

"Yattiddwa mu bukambwe obw'ekitalo kuba yasaliddwa obulago emimiro ne bagikutula n'ensingo n'ebulako katono okukutuka! Embeera eno etukubye entiisa yamaanyi kuba kibadde tekibeerangako ku kitundu kyaffe," Nkumbi bwe yannyonnyodde.

Joan Nabukenya nga ye muliraanwa w'omuzigo omugenzi mw'abadde akolera n'okusula yategeezezza nti bwe zaaweze ssaawa ssatu ez'okumakya kwe kulaba ng'ono taggulawo n'agezaako okukonkona naye ng'era teri kivaayo olwo n'asalawo okuyita banne.

Nabukenya yategeezezza nti wano we baalabidde oluggi lw'emmanju nga luggule omu ku bbo n'amulisa munda ne ttooki y'essimu n'alaba ng'ali ku kitanda yeebase abikkiddwa bulangiti naye ate bwe baagenze okumukwatako nga mufu yattiddwa mu kitaba ky'omusaanyi nga mwe baamuzazise.

Yategeezezza nti wano baakubidde poliisi y'e Mbalala nayo eyatuuse kyokka n'etegeeza ku bakama baayo okuva ku kitebe kya poliisi mu divizoni y'e Mukono abazze ne bateeka omulambo ku kabangali ne gutwalibwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Mulago okwongera okwekebejjebwa.

Dickson Mutiibwa Nkajja nga ye kkansala w'ekitundu kino yategeezezza nti abatuuze ababeera mu kitundu ekyo ku Mmande baalaba omuwala ono ng'ali mu dduuka n'omuvubuka gwe bataategeera mannya era nga yali tamanyise ku kitundu nga bateebereza nti yandiba nga ye yakoze ettemu lino n'abulawo n'ensimbi.

Mutiibwa yagambye nti kyandiba ng'omuvubuka ono yabadde muganzi w'omuwala nga wabula bwe yamulabye n'ensimbi olwo kwe kumwefuulira n'amutta ye n'adduka ne ssente.

Mu nnyumba poliisi yasanzeemu amacupa g'omwenge n'enkoko bano gye baabadde balyako n'okunywa ng'ettemu terinabeerawo.

Akulira bambega ba poliisi mu divizoni ya poliisi ey'e Mukono Catherine Tesiima yatuuse mu kifo kino ne basajjabe ne beekebejja ekitundu ne babaako bye baafunye ebigenda okubayamba mu kunoonyereza ku musango guno.

Abatuuze baategeezezza nti ekitundu tekibaddeeko nnyo butemu okuleka obubbi bw'ebisolo nga ne mu kiro kye kimu waliwo ente y'omutuuze eyabbiddwa ne bagibaaga ne balekawo ebigere, eddiba n'omutwe olwo ennyama ne bagenda nayo.

Akulira kabangali za poliisi ezirawuna ku nguudo zi mwasanjala, Samuel Bamuzibire mu kwogerako eri abatuuze yategeezezza nti omuze oguli ku kitundu kino ogukyasinze okubakola obubi bwe butamiivu ng'abantu babeera mu kunywa mwenge okuva obudde lwe bukya okutuuka ekiro.

Mu dduuka lya Mobile Money mwennyini mubadde mutundibwamu eby'okunywa eby'enjawulo omuli n'omwenge ng'ate lino liri mu katawuni mwenyini.

Bamuzibire yasabye abakulembeze b'ekyalo okufaayo okumanya ebantu ababeera ku kyalo kino n'agamba nti yabadde akitegeddeko ng'omuwala ono bwe yabadde yaakagenda mu kitundu kino okumala wiiki nga 2 zokka ng'era abantu abasinga babadde tebamumanyi nga n'ewa ssentebe w'ekyalo teyayanjulibwayo.

Mary Wanyana maama w'omugenzi omuto yagambye nti naye yakedde kufuna mawulire ga kufa kwa muwalawe n'adduka okutuuka gye baabadde bamugambye nga ddala kituufu yatemuddwa.

Wanyana yagambye nti omugenzi agenda kuziikibwa ku Kyalo Matale mu disitulikiti y'e Buikwe ewali ebijja bya bajjajjaabe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi...

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...