TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita adduukiridde essomero ne seminti ensawo 100

Minisita adduukiridde essomero ne seminti ensawo 100

Added 10th July 2019

MINISITA wa Micro Finance Haruna Kyeyune Kasolo adduukiridde essomero lya Gavumenti gye yasomera mu ggombolola y’e Nabigasa mu disitulikiti y’e Kyotera mu kaweefube gwe yakulembeddemu okulitaasa.

 Minisita Kasolo (mu kkooti) ng’awaayo seminti.

Minisita Kasolo (mu kkooti) ng’awaayo seminti.

Essomero lya Migongo P/S lye lyadduukiriddwa mu nteekateeka y'okukwatizaako abazadde beekembe okuzimbako ekizimbe kya bibiina musanvu okuyamba ku bungi bw'abayizi abasomerayo.

Kasolo yawadde ensawo za seminti 100 kw'ossa ensimbi enkalu obukadde butaano.

Mikwano gye gye yaalese okumukwatizaako nagyo gyawadde ebintu eby'enjawulo omuli ensimbi enkalu n'ebyetaago ebirala.

Omukulu w'essomero John Kaweesi yategeezezza nti balina abayizi abasoba mu 500 kyokka ebibiina ebyazimbibwa bikaddiye ebirala abayizi basomera mu nfuufu ate abalala mu bibiina ebyazimbibwa n'embaawo n'emiti.

Yagambye nti essomero lya Gavumenti kyokka ng'ebyetaago omuli n'abasomesa tebimala kye baava batuukirira Minisita Kasolo naye eyatandika kaweefube w'okukunga banne bwe baasomerako ku ssomero lino n'emikwano okujja babayambe.

Kasolo yabagumizza nti tebasaanye kutya essomero bajja kusobola okwenoonyeza ensimbi nga bayambiddwaako emikwano okuzimba ekizimbe eky'omulembe nga tebalinze Gavumenti.

Wabula yasabye abakulira essomero lino ensimbi n'ebyabaweereddwa nga seminti n'ebirala okubikwata obulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...