TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mao ayise Nambooze ekiyenje ekyetaaga okufuuyira

Mao ayise Nambooze ekiyenje ekyetaaga okufuuyira

Added 10th July 2019

OBUTAKKAANYA bwa Nobert Mao n’omubaka Betty Nambooze bweyongera buli lukya, Mao bw'ayise Nambooze ekiyenje ekyetaaga okufuuyira kiveewo.

 Abed Bwanika, Nobert Mao ne Mabike mu lukuhhaana lwa bannamawulire.

Abed Bwanika, Nobert Mao ne Mabike mu lukuhhaana lwa bannamawulire.

Mao yasinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire n'ategeeza nti ekibiina ky'akulembera kyalumbibwa ebiku, emisota, ebiyenje, enkwa n'emisege egyetaaga okuggyamu.

Yawadde eky'okulabirako ky'omubaka Nambooze gwe yagambye nti bafubye okumusembeza, kyokka ng'ebikolwa bye byonna birwanyisa ekibiina awo kwe kumuyita ekiyenje kye yagambye nti agenda kukifuuyira kiveewo.

Yakiraze nti Nambooze amaze ebbanga nga tabawagira ng'ekibiina, wadde nga ye abadde ateekamu obudde ne yeetoloola Mukono ng'amunoonyeza obululu.

Yasabye abeeyita bannakibiina okubeera abalambulukufu nga bwe baba tebakikkiririzaamu bakiveemu kubanga tekigasa okubeera mu bufumbo ng'obaliga.

Yategeezezza nti batandise okufuna eddagala okufuuyira ekibiina bagobemu enkukunyi ebiyenje, emisota ebiku enkwa nabuli kintu kyonna ekitawaanya ekibiina kubanga tosobola kwambala yinifoomu ya ttiimu eno ate n'osambira ttiimu ndala.

Yajjukizza nti DP eyaniriza buli muntu era mu mutima guno mwe baayaniririza Nambooze eyali owa NRM kakongoliro ng'atigomya n'abavubuka ba UYD.

Mu kutigomya kweyatigomya abavubuka ba UYD nakati Micheal Mabikke akyalina enkovu ku mukono gwe.

Teyakoma awo wabula yatuuka n'okuyungula abavubuka ne bayiwa piraawo waabwe ku mukolo gwe baaliko ekintu ekyasinga okubaluma. Mao yagambye nti olw'okuba DP erina omutima omulungi ,Nambooze baali bamusibidde ddala ku musango ogwokulya enguzi, ekibiina kya DP ne kiyungula balooya baakyo ne bamuyamba okumununula n'ava mu kkomera.

Olw'ekikola kyetwamukolera yasalawo okuyingira DP mu 2004. Twamuwa okubeera omwogezi w'ekibiina n'okumusimba mu kifo ky'obubaka bwa Palamenti oluvannyuma lw'okulagira munna DP Zirimala Kiggundu okuvaamu.

NAMBOOZE KY'AGAMBA

Nambooze aliko obubaka bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa facebook omutongole ng'ayanukula Christopher Okidi akulira abavubuka mu DP eyamwogeddeko mu ngeri efaanana eya Mao yamwanukudde nti; Mw. Okidi weetaaga okujja e Mukono nkubuulire ebinkwatako kuba n'omwaka gwoyogerako ogwa 1996 nali sikolera Mukono Town Council.

Ebigambo byonna ebimwogerwako nti yatabangulanga enkiiko za UYD yamuyise pokopoko wa byabufuzi byabukyayi ebisasaanyizibwa Okidi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...