TOP

Fresh Kid ne bazadde be balwanira bwassereebu

Added 10th July 2019

OLUTALO lubaluseewo mu maka ga taata wa Fresh Kid nga taata, maama n’omwana buli omu ayagala kubeera ssereebu.

 Maama wa Fresh Kid naye ateekateeka kutandika kuyimba. Ku ddyo ye Mutabaazi mu bbaala ya Fame e Kololo oluvannyuma lw’okuyimba.

Maama wa Fresh Kid naye ateekateeka kutandika kuyimba. Ku ddyo ye Mutabaazi mu bbaala ya Fame e Kololo oluvannyuma lw’okuyimba.

W'osomera bino nga taata wa Fresh Kid yatandise dda okuyimba ne yeetuuma n'erinnya lya Fresh Daddy.

Yatandise okukuba omuziki ng'awoza nti naye ayagala kufuna ku mazike ng'era oluyimba lwe yafulumizza yalutuumye ‘‘Mazike''.

Mzee Paul Mutabaazi eyali omusiizi wa cutekisi e Luweero ye yatandise okukooka nga n'ekivvulu kye ekyasoose kyabadde ku bbaala ya Fame Lounge e Kololo ku Mmande n'acamula abantu naddala abakazi ne bamuyiikira ne bazina naye amazina g'oyinza okuyita aga ‘Zigido'.

Taata olwayodde ku mazike ne maama wa Fresh Kid, Madrine Namata ekinyegenyege ne kimukwata.

Kati yeeyita Fresh Mummy n'aggulawo n'omukutu gwa ‘Facebook' naye akole ku linnya ng'erya mutabani we atandike okulya ku mazike.

W'osomera bino nga naye yafunye omuntu amuwandiikira ennyimba yeeyozeeko ennaku ave mu by'okufumba emmere e Kawanda bba gye yamuleka ng'amulumiriza okubuuka n'omusajja omulala.

Wabula abantu baatandise dda okwogerera Fresh Daddy amafuukuule nga bw'abisse omwana Fresh Kid kyokka ye agamba nti ebyo tebimukwatako naye ali mu kweyiiya.

Gye buvuddeko yategeezezza Bukedde nti ekiwandiiko ekyakolebwa minisitule y'ekikula ky'abantu eyassibwako emikono teyagabanya bulungi ssente ze balina kufuna.

Agamba nti buli Fresh Kid lw'ayimba meneja Francis Kamoga akola ku by'okuyimba kwa Fresh Kid yasinga okufunamu.

Taata afuna ebitundu 20, maama 10, omwana 10 n'ebitundu ebirala 10 ku akawunti ye, maneja 20 n'ebirala 30 bya kkampuni ye eya Texas Management ekola ku by'okuyimba kw'omwana.

Taata agamba nti ebitundu bya maneja 50 ku 100 bingi ate nga ye taata y'asuza n'okuliisa omwana n'okumujjanjaba, okumutwala ku sssomero n'ebirala ekiraga nti afuna kitono nnyo.

Taata yatandise dda n'okwambala ‘bling bling' w'abayimbi era alina essaawa ennene, essimu n'ekikomo eky'ebbeeyi. Bino we bijjidde nga mutabani we ali Dubai gye yayimbidde ku Ssande.

Okumanya taata wa Fresh Kid ayagala obwassereebu, yakola ka vidiyo nti "Amannya agange nze Paul Mutabaazi, taata wa Fresh Kid ssereebu, mwebale kuwatchinga Urban Tv' akaaleeta abantu okumugeegeenya n'asanyuka olw'okumwogerangako ekyamwongedde amaanyi okuyimba.

Erya Fresh Daddy nga tannalyetuuma yasooka kweyita Don K. Bwongo wabula ne balimusuuza kubanga awandiika ennyimba za mutabani we ye 14 K Bwongo era ekyo nakyo kyamunyiiza.

‘Mazike' yalukoledde mu situdiyo ya Kalifah Aganaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...