TOP

Abasawo balaze ekyasse omwana mu kisulo

Added 11th July 2019

Abasawo balaze ekyasse omwana mu kisulo

 Noah Mwami nnannyini ssomero lino ng’ayimiridde awagambibwa nti omuyizi we yagudde.

Noah Mwami nnannyini ssomero lino ng’ayimiridde awagambibwa nti omuyizi we yagudde.

ABAZADDE baasoose kufuna lipoota y'eddwaaliro ly'e Lubaga ng'eyogera ku mulambo okuzimba feesi n'olulimi kyokka ng'eraga nti okufa kw'omwana kwavudde ku buzibu bwe yafunye mu lubuto n'akaluubirirwa okussa.

Aba famire tebaamatidde bulungi kubanga ebyabadde bibategeezeddwa ab'essomero byabadde tebivaayo bulungi mu lipoota era ne basalawo omulambo gusooke gutwalibwe e Mulago bafune lipoota endala ku kyasse omugenzi.

Dr. Sam Kalungi eyakulembeddemu okwekebejja omulambo e Mulago, lipooti gye yafulumizza yalaze nti okukaluubirirwa okussa kwe kwavuddeko omwana okufa. Ebbaluwa y'e Mulago eraga nti ekyasse omugenzi mu lulimi olw'ekisawo bakiyita ‘Emphysema'. Kino kibeerawo singa omuntu abeera nga tasobola kussa bulungi oluvannyuma lw'obisawo ebitereka empewo mu mawuggwe okwabika.

Ebisawo bwe byabika, omukka gwe tussa (oxygen) gukendeera era amawuggwe gaba tegakyasobola kugusaasaanya mu bitundu by'omubiri ebirala. Abasawo balaga nti ku bantu abamu babeera nabwo nga bulwadde era basobola okubeera mu mbeera eno okumala emyaka egiwera nga tebakimanyi.

Akamu ku bubonero kw'osobola okulabira nti oli mu buzibu obeera tosobola kussa bulungi era nga kino kigenda kikula mpola. Olumu buba buzaale ate olulala buva ku bintu ng'okunywa ssigala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...