TOP

Omukuumi eyasseomusuubuzi ayogedde

Added 11th July 2019

Omukuumi eyasseomusuubuzi ayogedde

OMUKUUMI eyakubye omusuubuzi w'omu Kampala, Arnold Ainebyona Mugisha essasi eryamutiddewo ayogedde ebyabaddewo n'alumiriza omugenzi ne banne nti baasusizza ejjoogo.

Emmanuel Okirya gwe twasanze mu ddwaaliro e Mulago gyajjanjabirwa yagambye nti, Ainebyona ne baganda be, baasoose kukuba munne (Awaze) ebikonde era ye, yabadde azze kumutaasa.

Yagasseeko nti, mu kugezaako okutaasa, Ainebyona ne baganda be, baalemye okuwuliriza ne bongera okusiiwuuka empisa naye ne bamuvuma ne bamukuba n'ebikonde. "Munnange baamukoonye n'agwa wansi ne ngezaako okubayimiriza ne baagala okunkoona kwe kukwata emmundu nkube essasi mu bbanga kyokka nange simanyi ngeri ssasi gye lyawabye ne likwata Ainebyona."Okirya bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, "baganda ba Ainebyona bwe baalabye nga munnaabwe akubiddwa, bannumbye bankoleko olutalo kwe kusuula wansi emmundu ne nziruka kwe kugwa mu bantu abankubye bwe bati. Okiria eggulo yasiibuddwa okuva e Mulago n'atwalibwa ku poliisi ya Kira Division awali fayiro CRB 530/2019.

Okirya ku Quality Supermarket e Naalya abadde yaakakolerawo emyezi musanvu gyokka.

EBYABADDE MU KUSABIRA AINEBYONA

Eggulo, omulambo gwa Ainebyona gwatwaliddwa ku kkanisa ya All Saints e Nakasero emikwano n'enganda gye beebalizza Katonda olw'obulamu bwe.

Plan Mugisha, kitaawe w'omugenzi yagambye nti, gavumenti eveeyo eyambe Bannayuganda erwanyise emmundu eziri mu bantu abatamanyi ngeri ya kuzikozesa.

Yagambye nti, batabani be buli ku makya, babadde bakeera mu giimu eri ku kizimbe ekiddiridde Quality Supermarket. Carol Kagezi muwala w'omugenzi Joan Kagezi abadde omu ku ba fanfe ba Ainebyona yagambye nti, tewali ku bbo yamanyako nti aliyogera ku Ainebyona nga mufu. Yagambye nti, abadde muntu wa ddembe nga ne bwe muba musoowaganye, alinda enkeera n'akunoonya ne yeetonda.

Nnyina yamutenderezza omutima omulungi gwabadde nagwo. Okusaba kwakulembeddwa Rev. Dr. Medad Birungibyayesu eyasabye abantu okwewala obusungu. Yagmbye nti, singa tebwabadde busungu, Ainebyona teyandifudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...