TOP

Abakolera ku nguudo z'omu Kampalabajaganya

Added 11th July 2019

Abakolera ku nguudo z’omu Kampalabajaganya

 Wano nga bawanise emikono okuteesa.

Wano nga bawanise emikono okuteesa.

ABATEMBEEYI n'abayiwa ebintu ku nguudo mu Kampala basanyukidde ebbago ly'etteeka KCCA lye yabakoledde ne bategeeza nti kati emirimu gyabwe Loodi meeya Erias Lukwago agitereezezza.

Bagambye nti okuggyako obuwaayiro obutono obwassiddwa mu bbago lino, okusasula layisensi bakyanirizza era KCCA kati yeebasibye. Ku Lwokubiri loodi meeya yayise abasuubuzi bano ku City Hall bamuwe ebirowoozo ku ngeri bo gye baagala etteeka eribafuga likolebwe.

Olukiiko lwabaddemu n'ababaka ba palamenti okuli Betty Nambooze Bakireke, ne Moses Kasibante. Mu balala mwabadddemu meeya wa Lubaga Joyce Nabbosa Ssebuggwawo ne Sam Gombya omumyuka wa meeya wa Kampala Central. Mu lukiiko, bakkiriziganyizza nti basasule layisinsi ya 40,000/-. ate abayiwa ebintu ku nguudo basasule 60,000/-. Ssente zino za layisensi ya mwaka mulamba.

Baawakanyizza eky'okukkiriza abasuubula ebyamaguzi ku nguudo nga bwe kyabadde kiragiddwa. Kyokka KCCA n'ekalambira nga egamba nti waliwo abasuubuzi beemanyi obulungi nti bakozesa mmotoka ne bassaamu ebyamaguzi ne bazisimba ku luguudo okutunda kalonda owenjawulo.

Kisaliddwaawo nti abo basasule 498,750/- omwaka oba 236,250/- kwabo abakolera ebbali w'ekibuga. Abalagiddwa okukolera mu yinifoomu enzirugavu bawabudde nti langi eno esika nnyo omusana waakiri babawe kiragala.

Lukwago agambye nti ebbago likyali ku mutendera gwa kwebuuza ku buli akwatibwako era agenda kuyita ne bannannyini maduuka n'ebizimbe nabo bamubuulire bye baagala mu tteeka lino.

Yagambye nti mu nkola empya ayagala abagagga batandike okuzimba nga munda mu akeedi bassaamu ebifo bamufuna mpola mwe batundira ku ssente entono.

Wabula aba KACITA baalabudde KCCA ku kyavaako olutalo wakati w'abakolera ku nguudo n'abapangisa amaduuka nti ensonga ze ezimu era bagenderere nga bayisa etteeka eryo.

Issa Ssekitto yagambye tebasobola kukkiriza tteeka lireeta bantu kukolera ku mbalaza za maduuka gaabwe era bagenda kuliwakanya. KCCA yakola dda okunoonyereza nga eraga nti bagenda kusalawo ku nguudo ezimu eziwe abasuubuzi era mu zino mulimu olwa Ssebaana Kizito, Namirembe, Allen Road ne Nakivubo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...