TOP

Lwaki Mubiru alidde ogw'obutendesi bwa Cranes

Added 11th July 2019

Lwaki Mubiru alidde ogw'obutendesi bwa Cranes

ABDALLAH Mubiru agudde mu bintu FUFA bw'emulonze okusikira abadde omutendesi wa Cranes, Sebastien Desabre eyasuddewo omulimu nga ttiimu yaakawanduka mu AFCON. Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo ye yalangiridde Mubiru mu lukiiko lw'abaamawulire lwe yatuuzizza ku kitebe kya FUFA e Mengo eggulo ku Lwokusatu.

Mu lukiiko lwe lumu, Magogo yalangiridde ng'abatendesi n'abantu bonna ababadde ne Cranes mu mpaka za Afrika e Misiri, bwe baayiiriddwa nti kuba ekisanja kyabwe kyaweddeko nga kati beetaaga bantu abalina ebirowoozo ebipya okubatwala mu maaso. Desabre yeegasse ku Pyramids eya Misiri amangu ddala nga Cranes yaakawandulwamu Senegal ku luzannya lwa ttiimu 16.

Ababadde abamyuka be okuli; Matia Lule ne Fred Kajoba bonna tebakyalina mulimu, abasawo ba ttiimu abakulirwa Ronald Kisoro, abayooyoota emijoozi, abayoza emijoozi n'abalala. Magogo yategeezezza nti Mubiru kati y'alina obuvunaanyizibwa ku Cranes okutuusa nga balonze omutendesi ow'enkalakkalira.

Waakumyukibwa Livingstone Mbabazi, Sadiq Wassa ne Geoffrey Massa (maneja) nga bwe baali ku ttiimu eyakiika mu mpaka za COSAFA e South Afrika. "Twasazeewo ng'olukiiko olufuzi okuwa Mubiru omulimu guno atwale ttiimu yaffe mu maaso kuba twetaaga ebirowoozo ebipya.

Abatendesi ababaddewo batukoledde omulimu mulungi nnyo kyokka ekisanja kyabwe ekya polojekiti ya 2019 kiweddeko nga kati tutunuulidde kampeyini ya 2026 gye twetaaga okutandika okuyiiyiza n'abantu abapya," Magogo bwe yategeezezza abaamawulire.

Yayongeddeko nti abantu ababadde ne Cranes ba ddembe okuddamu okusaba emirimu buli omu gw'asobola kuba bagenda kuteekawo akakung'unta mwe banaalondera omutendesi omujjuvu ng'ekiseera ekituufu kituuse.

Gye buvuddeko, Mubiru yaweebwa obuvunaanyizibwa okutendeka Cranes eyeetaba mu mpaka za COSAFA kyokka mu biseera ebyo yali wansi wa Desabre. Mubiru agenda kutandika na kutegeka ttiimu egenda okuttunka ne Somalia mu zisunsula abanaazannya empaka za CHAN mu mupiira ogugenda okuzannyibwa wakati wa July 26-28 mu kibuga Mogadishu ekikulu ekya Somalia.

Mu kafubo Desabre ke yalimu ne Magogo nga bakyali mu mpaka za Afrika, kigambibwa bwe yali amutegeeza ku by'okwegatta ku Pyramids FC eya Misiri, Desabre yasemba Mubiru nti ye mutendesi gw'alabamu ‘vizoni' etwala Cranes mu maaso.

Desabre gagamba Magogo nti bw'aba ayagala ttiimu okusigala ng'ezannya omupiira ogw'okulumba ate nga gunyuma, awe Mubiru omulimu kuba kyakola akitegeera.

CRANES EYAGALA KUKIIKA MU WORLD CUP;

Magogo bwe yabadde ayogera ku polojeti eddako eya 2026, yategeezezza nti ayagala Cranes ekiike mu World Cup era bagenda kutandikirawo okwetegeka mu buli kimu. Yagambye nti bagenda kufuna abakugu bagende mu lusilika mwe banaatemera empenda ku ngeri gye bayinza okukiika.

Yayongeddeko nti wadde nga batunuulidde okukiika, n'okuddayo mu mpaka za Afrika mu 2021, 2023 ne 2025 bakiriko nnyo era bagenda kusigala nga bakissaako amaanyi. Empaka endala FUFA z'eyagala Cranes ekiike kuliko eza CHAN ng'ate Cranes ekola bulungi okusinga bulijjo w'ekoma.

Emirundi gyonna ttiimu y'eggwanga gy'ezannye mu CHAN, tevangako mu kibinja. "Nga bwe twatandika okwetegekera eza Afrika ng'obudde bukyali, ne ku mulundi guno twetaaga okutandikirawo okwetegeka lwe tuggya okusobola okutuukiriza ebiruubirirwa byaffe," Magogo bwe yategeezezza.

LWAKI MUBIRU YE YALONDEDDWA Omupiira gw'atendeka okuba nga gunyumira abawagizi kimuwa enkizo ku batendesi abalala. Desabre bwe yagenze, kyeragiddewo nti Mubiru y'alina okumusikira.

Omupiira Mubiru gw'atendeka bw'ogussaamu abazannyi abalungi, guwangula. Desabre yamukoneddemu; Kigambibwa nti FUFA bwe yali enoonya omutendesi anaatwala Cranes mu COSAFA, Desabre yabawa amagezi okukozesa Mubiru kuba amanyi okukwata obulungi abazannyi ate asobola okutendeka obulungi akawoowo buli omu k'ayayaanira okulaba.

Amanyi okuzimba abazannyi; Bw'otunuulira Police, Mubiru gy'atendeka, tosangamu muzannyi yagulwa ssente nnyingi kyokka sizoni w'eggweereddeko nga Juma Balinya, Hassan Kalega, Paul Willa n'abalala nga be basinga okubeera akatale. Police, ebadde ezannya omupiira omunyuvu n'abazannyi abatamanyiddwa era mu kiseera kino, Balinnya ne Willa baaguliddwa.

TEWALI MUZANNYI ABANJA Magogo era yagambye nti tewakyali muzannyi wa Cranes abanja ssente yonna kuba buli omu yasasuddwa era baazifunye ku akawunti zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...