TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu Butto wa ovakkedo okugoba enkanyanya, situka n'okunyiriza olususu

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu Butto wa ovakkedo okugoba enkanyanya, situka n'okunyiriza olususu

Added 11th July 2019

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu Butto wa ovakkedo okugoba enkanyanya, situka n’okunyiriza olususu

 Ekibala kya ovakkedo

Ekibala kya ovakkedo

ABANTU bangi balya ovakkedo era bamanyi nti alimu ekiriisa, wabula batono abasobola okunnyonnyola ebiriisa ebimulimu n'engeri entuufu gye balina okumulyamu okubifuna obulungi.

Ky'ova olaba abamwettanira bafa ku kumulya ne basuula ensigo ne batamanya nti ate basudde obugagga n'ekiriisa ekyamaanyi. Ensigo eno tugikamulamu butto alimu ebiriisa eby'enjawulo.

1 Abakyala ab'embuto abayamba okuzaala omwana nga talina buzibu, wano omukyala apima akagiiko kamu aka butto wa ovakkedo n'aliira mu nva.

2 Eyeesiba olubuto akuyambako okuba ng'ofuluma bulungi ate akola ne ku bafuluma omusaayi.

3 Akola ku bizimba mu kyenda n'abalina alusa.

 butto akamuddwa mu nsigo za ovakkedo butto akamuddwa mu nsigo za ovakkedo.

4 Omulwadde wa ssukaali, amuyamba ku kataago okukola ekirungo ekiyamba okuteeka sukaali amala mu mubiri.

5 Abalwadde ba puleesa abakolera kubanga asaabulula amasavu amabi mu mubiri.

6 Ayamba okufuna olususu olugonvu. Okwewala okukaddiwa amangu nywa ate nga bw'omwesiiga ku lususu awo n'odda buto.

7 Akola ku lususu oluvaako evvu, enviiri ezikutuka, ezirimu situka n'olususu olumera ebisukko ng'obadde osibye enviiri. Okwo gattako abalina oluyinja mu ffeesi.

8. Abaana n'abantu abakulu abafuukuuse olususu abayamba okulutereeza ssinga omunywa n'okumwesiiga.

9. Bw'oba otera okufuna ebisukko ng'omaze okusala enviiri mukozese, era ayamba.

10. Ayamba abantu abatalina mazzi mu magumba okugazzaamu ne gaba nga tegeekuuta n'okugumya enkizi.

11. Ku bakyala bannabukalu oba abasiriiza entamu nabo abayamba, okwo gattako abaagala okwoza omusaayi.

12. Akumalako enkyakya ate akala emimwa mwesiige okugigonza.

13. Abalina omusaayi ogukulukuta obutasalako ssinga ofuna ekiwundu, akuyamba okuwona ekizibu kino.

Julius Nyanzi asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...