TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mukwano afudde ayingiza obukadde 126 buli lunaku

Mukwano afudde ayingiza obukadde 126 buli lunaku

Added 12th July 2019

Mukwano afudde ayingiza obukadde 126 buli lunaku

 Amirali Karmali abadde amanyiddwa ennyo nga Mukwano

Amirali Karmali abadde amanyiddwa ennyo nga Mukwano

MUKWANO oyinza okumuyita nnaggagga afudde tatoma. Alese ssente ezitotoogana ng'obukolwa. Buli ssaawa bizinensi ze ziyingiza obukadde 126. Buli maka ga muntu, Mukwano ayingirayo nga takonkonye ng'ayita mu bintu by'okozesa okuli ssabbuuni wa Mukwano, butto, ebidomola, amazzi, siyaagi, n'omuzigo gw'omu bikebe gwa bika bitaano, obutebe bwa pulasitiika oba amajaani.

Erinnya Mukwano lyamukalako lwa ngeri gy'abadde abudaabuda abantu ne bamuyita ‘Mukwano gw'abangi'. Layongera okukakata bwe yatandika bizinensi y'okukola ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo nga buli ky'akola akituuma linnya Mukwano.

Okugeza ssabbuuni we ayitibwa ‘Mukwano soap'. Ebizimbe olukunkumuli by'alina mu Kampala nabyo abiwandiisa mu linnya Mukwano. Ebizimbe kuliko ‘Mukwano Mall' ne ‘Mukwano Akeedi'. Amannya ge amatuufu ye Amirali Karmali. Muyindi-Munnayuganda. Yazaalibwa mu 1930 e Bukandula mu Gomba, eno bazadde be gye baali basuubulira emmwaanyi ne ppamba mu myaka gya 1930.

Kitaawe Ali Mohamed Karmali yava Buyindi n'ajja mu Uganda mu 1904. Yasooka kutunda dduuka e Jinja, gye yava n'alizza e Mbarara. Oluvannyuma n'asengukira e Gomba ng'alengedde ssente mu busuubuzi bw'emmwaanyi ne ppamba. Mukwano yafiiridde mu maka ge e Kololo gy'abadde ajjanjabirwa.

Mu nnaku ze ezaasembyeyo abadde ali ku macupa, kyokka ng'abasawo bagamuteerako wuwe. Wadde ye Munnayuganda akwata ekyokusatu mu basinga obugagga okuva ku Sudhir Ruparellia n'aba famire ya Madhvan abakola ssukaali e Jinja, kyokka abadde tayagala ‘butaala'. Erinnya lye liringa lye ‘yatta' n'akulembeza lya Mukwano ly'akoleramu ssente. Mu 1999, yasalawo okuva mu Kampala n'agenda e Tooro gy'alina amasamba g'amajaani agatudde ku ttaka eriri mu mayiro ne mayiro.

 

Eyo gye bakolera amajaani ga ‘mukwano tea'. Ekkolera lye erya Mukwano Industries eriri okumpi ne sitenseni y'eggaali okutuuka e Kibuli lye lisinga obunene mu Kampala wakati. Ebizimbe bye tekufunika dduuka kubanga abadde n'enkola y'okussa ekitiibwa mu bapangisa.

Tamala gongeza ssente ate awa abapangisa ekiseera ekimala okusasuliramu. Awa omukisa abasuubuzi okusalawo okusasula mu ssente za wano oba ddoola. Embeera eyo eyambye obutabaawo kwekalakaasa ku bizimbe bye. Abakuba akatabo akanoonyereza ku bagagga mu nsi yonna aka Forbes baafulumizza olukalala mu 2018 ne balaga nga Mukwano waakusatu mu Uganda. Obugagga bwe bubalirirwamu obukadde bwa ddoola 700. Ssente ze azissa mu makolero, bbanka n'ebizimbe.

Buli mwaka ayingiza obuwumbi 300. Ekitegeeza nti buli lunaku ayingiza obuwumbi busatu ate buli ssaawa akola 126,736,111/- (kumpi obukadde 127). Akozesa obutereevu abakozi 7,000. Mukwano emu ku makampuni 10 agasinga okusasula omusolo mu Uganda.

EBYOBUGAGGA EBIRALA BY'ALESE

l Alina kkampuni ya AK Transporters Uganda Ltd. etambuza ebyamaguzi. Erina loole ezisukka mu 200.

l Gulf Stream Investments Ltd. nayo ya Mukwano. Etereka ebyokunywa ebiweweevu ng'erina amakanda ku mwalo e Mombasa mu Kenya.

l Alina emigabo 36 mu Exim Bank Uganda, l Ekyuma kya Lira Maize Factory ekifulumya obuwunga, Lira Oil Mill Ltd. ekikola butto okuva mu ntungo n'ensigo za ppamba.

l Kkampuni ya Mukwano Agro Project Ltd. erina yiika z'ettaka 17,000 e Masindi kw'alimira kasooli, soya n'entungo.

l Mukwano AK Plastics efulumya ebintu bya pulasitiika okuli obutebe, ebikopo, ebidomola n'ebirala.

l Mukwano Dar- es- Salaam Factory ekola butto ne ssabbuuni e e Tanzania. l Mukwano Industries Limited efulumya ssabbuuni ayoza n'anaaba gattako ebyokunywa ebizzaamu amaanyi.

l Kkampuni ya Nationwide Properties Ltd. ezimba mayumba.

l Riley Packaging Ltd. ekola ebisabikibwamu ebintu ebirala. Famire yataddewo ekitabo ky'abakungubazi ku luguudo lwa Old Portbell Road ku plot 11 mu Kampala mwe bagenda okussa emikono okutandika eggulo lwe yafudde okutuuka leero buli lunaku okuva ku ssaawa 8:00 okutuuka ku 11:00 ez'olweggulo.

Wano yazimbawo Omuzikiti omunene. E Bukandula mu Gomba we waaziikibwa kitaawe n'abamu ku baganda be. Kyokka Abdallah Kaye omutuuze ku kyalo yategeezezza nti tebakyaziikayo.

AMIN BWE YAGOBA ABAYINDI TEYADDUKA

Y'omu ku Bayindi abatono abaasigala mu ggwanga oluvannyuma lwa Idi Amin Dada okubagoba mu 1972. Yasalawo kudda Bukandula ng'agamba nti, "eno gye nnazaalibwa, gye nnakulira era nnina kufiira mu Uganda." Mu 1980, yayingira Kampala n'atandika edduuka eritunda cakala n'ebirime.

Yatandika okutunda engoye ze yajjanga e Dudai n'azitundira ku LuwUm Street. Mu 1986 yatandika okukola ssabbuuni ne butto wa Mukwano era okuva olwo teyaddirira mu byobusuubuzi. Yatandika ekkolero ly'ebintu bya pulasitiika ne sSabbuuni. Bizinensi yazikwasa mutabani we Aly Khan mu 1999 ye n'adda mu kyalo.

Yagaziya akatale k'ebintu bye n'abitwala e Kenya, Tanzania, DR Congo, Sudan. Bwe yali aggulawo ekizimbe kya Acacia Mall, mu Kampala mu 2014, Pulezidenti yasoOmooza Bannayuganda okulabira ku Mukwano asobodde okukozesa embeera eri mu ggwanga ennungi n'agaggawala.

Mu 2011, Pulezidenti Museveni yawa Mukwano n'omugenzi Dr. James Mulwana emidaali gy'abantu abakoleredde ennyo enkulaakulana y'eggwanga ne balaga nti omuntu asobola okutandika bizinensi mu Uganda n'agaggawala.

MUKWANO N'OBUSIRAAMU

Sheikh Adam Walusimbi, Imaam w'omuzikiti gwa Mukwano mu Industrial Area yayogedde ku Mukwano ng'abadde omusajja omugabi ennyo. Azimbye Emizikiti mingi mu Kampala n'ebitundu by'eggwanga ebirala nga mu kibuga Fort Portal gye yazimba Omuzikiti omunene. Abadde alina enkola y'okusiibulula Abasiraamu mu Mizikiti gy'omu Kampala mu mwezi gw'ekisiibo nga kw'agatta n'okusala ebisolo n'abawa ennyama.

Abakozi be Abasiraamu abadde abatwala okulamaga e Macca okubasiima okukola emirimu.

MUNNABYAMIZANNYO

Simon Mugabi, akulira ebyemirimu mu muzannyo gwa Badminton yategeezezza nti Mukwano abadde muwagizi waabwe lukulwe nga yasasulirako empaka za ‘Mukwano Nomi Badminton Tournament' okumala emyaka 10. Ate Jackson Kavuma, maneja wa ttiimu y'eggwanga eya Criket yagambye nti, Mukwano yabateekangamu ssente mu myaka gye 1990 okumala emyaka esatu.

ISRAEL MAYENGO Mukwano musajja eyeesiga omuntu era nga tatya kuwola bbanja. Olumu yamuguza ebyuma bya kawumbi kalamba kyokka ng'amusasuddeko obukadde 50. Bwe yali tannava ku kusuubula ngoye e Dubai, yatwalayo mikwano gye 10 n'agyanjula mu Bawarabu ne gifuna engoye ku bbanja.

Kyokka abasatu bwe baabawa engoye tebaddayo kusasula era baayavuwala obwavu babuyonka butaaba. Bannaabwe omusanvu abaasasula bagagga bavundu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu