TOP

Nantongo afunye omusajja amuwuuba

Added 12th July 2019

Nantongo afunye omusajja amuwuuba

‘‘BALI baveeko bannage nzekka, totya bambi ojja kuba bulungi, gwo omukwano nagukuguka gwonna buli kadde nja kuba nkusanyusa lwakuba olwawo okulabika, oli wa bbula nnyo malayika naye nze.....mwana gwe ompuuba, ompuubye ofuuse kawuuba......'' n'ebirala bye bimu ku bigambo ebiri mu luyimba lwa Carol Nantongo olupya ‘‘Ompuuba'' lwe yafulumizza.

Oluyimba luno lwa mukwano nga lutandika n'ekidongo ekitaleka muntu mu ntebe olw'obuwoomi obukirimu.

Olumala n'asumulula ebigambo ebiwooma nga biwaana omusajja gwe yafunye ng'agamba nti amuwuubye mu by'omukwano n'amatira era essanyu lyonna ly'alina ggaayi ono yalimuwadde.

Alina waasabira muninkini we ono...aleete laavu yonna gy'alina kubanga amulinze. Agamba nti abasajja abamukwana abatambuza n'okubaguumaaza nga bw'abategeeza nga bw'alina omusajja abasinga mu kano akazannyo ka laavu lwakuba alwawo okulabika.

Okumanya mwanamuwala ono awaanye omusajja, atuuse n'okumuyita ‘omusota ogubojja ‘n'alayira nti okumufiirwa waakiri ayonoona bwatyo n'alabula abawala b'ekibuga okumwesonyiwa'.

Oluyimba luno alugasse ku nnyimba endala zazze akuba okuli: Tukiggale, Kamese Tambula, Ontuuka, Misumaali, Nakusiima, Ndagirira ne Sirwana lwe yakuba ne Sheebah Karungi olubawanise ku ntikko.

Maneja Judas yategeezezza nti oluyimba luno baalukoledde mu situdiyo ya Sabula nga Pulodyusa Baur ye yalukuttemu. Lwawandiikiddwa Judas ne Nickoly ate aba Virtial Media ne bakola vidiyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...