TOP

'Ekkomera lituyinze tusaba kisonyiwo

Added 13th July 2019

ABAVUNAANIBWA okutta omwana Emmanuel Wasswa 15, ne bamuziika mu nkukutu balaajanidde nnyina ennaku gye bayitamu mu kkomera e Kigo ne bamusaba abasonyiwe bafulume ekkomera kuba libakeese.

 Namakula ku kkono, Kiwanuka, Kikuuno (mu bimyufu). Ku ddyo ye, Kawunde mu kkooti. Mu katono, Wasswa eyattibwa

Namakula ku kkono, Kiwanuka, Kikuuno (mu bimyufu). Ku ddyo ye, Kawunde mu kkooti. Mu katono, Wasswa eyattibwa

Cotilda Namakula 68,Samewo Kiwanuka 34, Joel Kinaalwa Kikuuno 33 ne Geoffrey Kawunde 38, bataata b'omwana abato baategeezezza Joyce Kisaakye nnyina w'omwana nti bayita mu kaseera akazibu ennyo olw'okubeera mu kkomera lye baali tebamanyidde.

Joel Kikuuno omu ku bavunaanibwa yasabye Kisaakye abasonyiwe olw'ennaku ennyingi gye bayitamu nga n'ekisinga okumwennyamiza ye maama waabwe ali mu myaka emikulu okusula mu kkomera,ekintu kye yali tasuubira kumutuukako.

Kisaakye yamuzzeemu n'amugamba nti naye awulira ennaku olw'omwana we gw'amaze emyezi etaano nga tamanyi gyali.

Yagasseeko nti eby'okusonyiwa byandibadde awo naye tamanyi mwana we gye baamuteeka.

Kikuuno yamuzzeemu nti ekituufu omwana baamukangavvulamu katono naye banne okuli Kawunde, Susan Nakiddu (aliira ku nsiko) n'abalala be bamanyi ebisingawo.

Wabula,yabadde akyayogera abaserikale ne basaba Kisaakye ave mu kaduukulu kuba obudde obuzzaayo abasibe mu kkomera e Kigo bwabadde butuuse.

Kkooti yatandise ku ssaawa 8;00 ez'olweggulo mu maaso g'omulamuzi Esther Nakadama eyasomedde abavunaanibwa omusango gw'okutta omwana ne bamuziika mu kifo ekitamanyiddwa.

Omuwaabi wa Gavumenti ku kkooti e Wakiso Emily Ninsiima yategeezezza kkooti nti okunoonyereza ku musango kukyagenda mu maaso era n'ategeeza nti ne fayiro yaleetebwa mu ofiisi y'akulira abawaabi ba Gavumenti e Mpigi era balina bye bagibuulirizaako.

Kigambibwa nti ab'oludda lw'abawawaabirwa baategeeza kkooti ng'abantu baabwe bwe baabasibira obwereere nga tebalina kye bamanyi ku musango gubaavunaanibwa.

Omulamuzi omusango yagwongeddeyo okutuusa nga August 7, 2019 lwe gunaddamu okusomebwa.

Ekikolwa kino kyaliwo nga 26, February 2019 ku kyalo Bbaale mu Ggombolola y'e Masuuliita e Wakiso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...