TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Yeeyise omusawo n'akuba abayizi b'amasomero empiso enfu

Yeeyise omusawo n'akuba abayizi b'amasomero empiso enfu

Added 13th July 2019

OMUKAZI Hanifah Nakaayi eyeeta Hannah Bitamazire yeefudde omusawo okuva mu minisitule y’ebyobulamu n’atalaaga amasomero mu Divizoni y’e Bweyogerere, nng’agenda akuba abayizi empiso nti abagema obulwadde bw’ekibumba ‘Hepatitis B’ ne kookolo w’omumwa gwa nnabaana mu bawala.

 Nakaayi eyeeyita Bitamazire.

Nakaayi eyeeyita Bitamazire.

Poliisi y'e Bweyogerere egenze okumukwata ng'atambudde amasomero okuli; Faith Junior School e Bweyogerere, Zion P/s, Noah's Ark P/s, Tabiah P/s, Prosper P/s, Multipurpose P/s ne Bweyogerere High School.

Abadde n'ebbaluwa ze yajingiridde nga ziraga ava mu minisitule y'ebyobulamu nga ziragira buli muyizi gw'agema alina okusasula ssente 1,000/- okumuyambako okukola obulungi omulimu guno.

Takomye kugema bayizi bokka wabula n'abamu ku basomesa abatwaliddemu.

Poliisi yamusanze ng'alina ne sitampu y'eddwaaliro lya Kira Health Centre IV, bookisi y'empiso, n'obucupa obulimu ebiragala bye yagambye nti, yabigula mu maduuka agatunda eddagala.

Bino byonna byatwaliddwa mu kkeberero lya Gavumenti e Wandegeya bikeberebwe.

Isaac Ssenkubuge ssentebe wa Divizoni y'e Bweyogerere yagambye nti Ono okukwatibwa kiddiridde Paster Musoke Kaweke owa Zion P/s e Bweyogerere okutwala okwemulugunya mu ofiisi ye nga yeekengedde Nakayi ne bakwatagana ne poliisi ne bamukwatira ku Bweyogerere High School.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...