TOP

Ebyabadde mu kuziika Mukwano

Added 14th July 2019

NAGGAGGA Amirali Karmali Mukwano yaziikiddwa e Kololo mu limbo, kyokka bannaddiini mu Busiraamu ne bawakanya eky’okumenya obulombolombo bw’eddiini y’Obusiraamu ng’okumaza omulambo ennaku ssatu nga tegunnaziikibwa wamu n’okugubikkulira abantu okugulabako.

Mukwano yafa Lwakusatu lwa wiiki eno ng'amaze ennaku ssatu nga tannaziikibwa.

Mu nteekateeka eyakoleddwa be kikwatako, omugenzi baamututte ku kisaawe e Kololo abantu baabulijjo okwabadde ab'emikwano, abakungu mu gavumenti ne bamukubako eriiso evvanyuma.

Wabula Sheikh Muharim Kasujja abadde akolanga Amir w'ekiwayi ky'Abatabbuliiki e Nakasero, yannyonnyodde nti byonna ebyakoleddwa bikontana n'amateeka g'Obusiraamu ku muntu afudde. Yakiraze nti mu Busiraamu omuntu bw'afa, ateekeddwa kuziikirwawo.

Yayongeddeko nti omuntu olukutuka bwati, anaazibwa, n'azingibwa bulungi okumuteekateeka okutwalibwa okuziikibwa.

Abantu bokka abakkirizibwa okutunula ku muntu oyo be b'eng'anda nga abaana, abazadde nti kyokka nabo bwe basanga ng'omuntu amaze okunaazibwa azingiddwa, tebakkirizibwa kumubikkula.

Ku kisaawe e Kololo, abantu baagumidde enkuba eyakedde okutonnya ne bagendayo okukuba eriiso evvannyuma ku mugenzi era bangi baamwogeddeko ebirungi bingi okumala ebbanga lye bamulabidde.

Gavumenti yakiikiriddwa omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi eyeetisse obubaka bwa Pulezidenti Museveni.

Mu bubaka bwe, pulezidenti yagambye nti Mukwano abadde musajja eyeenyigira mu buli kintu omuli obulimi, eby'ensimbi, munnamakolero, eby'entambula n'ebirala bingi.

Mukwano yayamba nnyo okumalawo ebbula ly'ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo nga sabbuuni n'ebirala.

Ayigirizza bangi okukola n'awa eky'okulabirako nti ayigirizza bangi obusuubuzi mu kibuga.

Okuba nti omugenzi abadde akozesa abantu abasukka mu 4,000 kiraga nti abadde mwoyo gwa ggwanga yennyini.

Ssaabawolereza wa gavumenti William Byaruhanga yagambye nti bulijjo pulezidenti abaddenga abanyumiza nti bambega be baamuleetera amawulire agagamba nti Mukwano yeenyigira ku kusuubula zaabu n'okutunda ensimbi z'amawanga ag'ebweru mu bukyamu nga baagala bamukwate.

Wabula yabagaana okumukwata n'amuyita n'ayogera naye n'amubuuza ku bye baali bamulumiriza.

Mukwano n'agamba nti yali akola ebintu bingi okweyimirizaawo nti kyokka nga bwe yali asisinkanye pulezidenti, yali asaba aweebwe ssente akole ekkolero.

Museveni yakkiriza okusaba kwa Mukwano n'alagira banka enkulu eya Uganda n'emuwa ssente ze yatandisa okuzimba ekkolero lya sabbuuni era okuva olwo, teyadda mabega okutuusa w'afi iridde.

Omusuubuzi Patrick Bitature yagambye nti ajjukira omugenzi lwe baamusiba e Luzira omwezi mulamba nga bamulumiriza nti yali atunda ebyambalo by'amagye wabula bwe yavaayo, yagamba nti okumusiba kimuyambye okuwummulamu era bwe yavaayo, yatandikira awo n'akola n'amaanyi.

Mutabani w'omugenzi, Alykhan Karmali yagambye nti kitaawe abadde musajja atali wa bulijjo n'akiraga nti abalekedde okusoomoozebwa okw'amaanyi okudda mu bigere bye.

Yagambye nti pulezidenti yamukubidde essimu n'amutegeeza nti ali bweru wa ggwanga kyokka n'amukuutira okukuuma famire ng'eri wamu okusobola okutwala mu maaso ebintu bya kitaabwe.

Yagambye nti bajja kufuba okutwala ebya kitaabwe mu maaso ng'okukulaakulanya Bannayuganda n'amaliriza ng'agamba nti ‘empologoma yeebase ekiro kya leero'.

Katikkiro wa Tooro, Bernard Tungwaho eyeetisse obubaka bwa Oyo Nyimba Kabamba Iguru , yagambye nti omugenzi yali yaweebwa empaaho ya Amooti n'agamba nti awadde Tooro ekifaananyi ekirungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...