TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muggye ensonga z'obufumbo ku buzindaalo n'emikuttu gya yintaneeti - Omusumba Kisawuzi

Muggye ensonga z'obufumbo ku buzindaalo n'emikuttu gya yintaneeti - Omusumba Kisawuzi

Added 14th July 2019

REV. Micheal Wasswa Kisawuzi omusumba omubeezi ow’Obusumba bw’e Kazo acoomedde abafumbo abagufudde omuzze okuzzanga obutakkaanya bwe baba bafunye ku buzindaalo n’emikuttu gya yintaneeti.

 Abakristaayo abeetabye mu kusaba ku Ssande. Mu katono ye musumba Kisawuzi

Abakristaayo abeetabye mu kusaba ku Ssande. Mu katono ye musumba Kisawuzi

Bya REGINAH NALUNGA

Bino Kisawuzi abyogeredde ku kitebe ky'Obussaabadinkoni bw'eKazo ku St.Luke ku lunaku lwa petero,omuyima w' abaami abafumbo .

Amaka kirabo eri ekkanisa n'eggwanga lyonna ,ensi yonna etambulira ku bufumbo era amaka aganywedde ly'eggwanga erinywedde.

Abafumbo buli omu asooke ategeere munne era amanye nti yamusaanira era katonda gw'amuwadde,n'olwekyo mukkirize katonda abeere mu maka gaammwe.

Omusumba Kisawuzi ayongeddeko nti abafumbo okweyanika mu mawulire, facebook,Whatsapp  kiswaaza era kikyamu nnyo okwewebuula mu lujudde.

Isaac Kabanda Mukisa  akulira abaami abafumbo  ku St .Luke, agambye nti ekimu kubiviriddeko amaka okussassika ensangi zino, gy'emikwano emikyamu egituwa amagezi abagawabya ne sitani ayingira mu bufumbo n'abunnafuya.

Akubirizza abaami okwongera okussa ekitiibwa mu bufumbo ,okwagala bakyala baabwe n'okwagala abaana baabwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...