TOP

Abakazi banyize Bugingo

Added 15th July 2019

Abakazi banyize Bugingo

 Teddy Naluswa ne Bugingo

Teddy Naluswa ne Bugingo

Teddy Naluswa asitukiddemu ku bya Paasita Bugingo okumwanika ku kadaala nga bwe yalwala ekikulukuto. Addukidde mu kkooti n'agisaba eggalire Bugingo olw'okumuvvoola buli lw'ayagadde.

Abakazi abamaanyi ensonga bazipaazizza bagamba nti Bugingo teyavvodde Teddy yekka wabula abakazi bonna okuli ne nnyina (maama wa Bugingo). Bakoze ekiwandiiko kye batwala eri akakiiko akakola ku ttivvi ne leediyo kabonereze Bugingo okusinziira ku leediyo ye ne ttivvi n'ayogera ebyesittaza.

Tebakomye awo, ensonga bazitwala mu palamenti. Abalala baguze katoni za ppamba baziddize Bugingo nga bagamba nti alabika ppamba gwe yagulira Teddy okumala emyaka 10 yamuluma nnyo.

Mu kulumba Bugingo okulabika nga kwe kukyasinze okuva mu buli nsonda okuli n'emikutu gya yintaneti, Bugingo yavuddeyo ku Lwomukaaga ne yeetonda. Yazzeemu okwetonda mu kusaba eggulo n'atangaaza nti yabadde talengezza Teddy wabula okulaga embeera gye baayitamu enzibu nga Teddy alwadde ekikulukuto okumala emyaka 10.

Kyokka be yeetondedde baabadde tebannamusonyiwa ate n'alumba abaguze ppamba okumumutwalira. Abo yabayise batumbaavu.

Wabula abakazi nabo balemeddeko okugenda mu maaso n'okwekalakaasa gattako okutwala ekiwandiiko mu palamenti n'akakiiko akavunaanyizibwa ku biweerezebwa ku ttivvi ne leediyo.

Bino biddiridde Bugingo okusinziira mu kkanisa ye e Makerere ku Lwokusatu n'ajolonga mukazi we Teddy nti yalwala ekikulukuto. Bugingo yamala emyaka 10 nga buli lunaku agula ppamba kubanga paadi zaali tezikyagasa. "Teddy yeewaana atya bw'agumiikirizza emyaka 29, kyokka nga mu mu myaka egyo tebeegatta mu kaboozi mirundi giwera 100?" bwe yeebuuzizza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...