TOP

Abakyala bagaanyi okwetonda kwa Bugingo

Added 15th July 2019

Abakyala bagaanyi okwetonda kwa Bugingo

 Minisita Persis Namuganza ku kkono ne Miria Matembe ku ddypo nga boogera ku nneeyisa ya Bugingo

Minisita Persis Namuganza ku kkono ne Miria Matembe ku ddypo nga boogera ku nneeyisa ya Bugingo

Persis Namuganza minisita omubeezi ow'ebyettaka; Bugingo by'akola tebityoboola Teddy yekka wabula abakyala ffenna mu ggwanga. Omwami omufumbo bw'ayogera ku by'obufumbo bwe aba tategeera.

Tujja kuteesa ku nsonga ya Bugingo mu Palamenti. Teddy byonna bigumire ku lw'abaana bo. Sophie Gombya akulira abakyala abayimbi era omu ku bali emabega w'enteekateeka z'okulaba nga Bugingo awa abakazi ekitiibwa yategeezezza Bukedde nti tebakkirizza kwetonda kubanga Bugingo azze yeetondera mukyala we nga bwe yeefuula n'addamu buto okujolonga.

Miria Matembe, omulwanirizi w'eddembe ly'abakyala; Oyo Bugingo tategeera. Asobola atya okuvvoola omukazi?

Ate kimanye musajja ggwe, wavvodde bakazi bonna si Teddy yekka. Bugingo yamenya endagaako gye yakola ne Katonda okuva lwe yasaba ayawukane ne mukyala we Teddy.

Kitegeeza yamenyawo Katonda kye yateekateeka. Nneewuunya n'abasumba abalala abatannamanya nti Bugingo yeetaaga kukolwako kubanga embeera gy'alimu si ya bulijjo. Nsaasira abagoberezi be. Kati oyo abuulira njiri ki?

Ddala Bugingo mulokole? Omuyimbi Ameria Nambala yategeezezza nti okwetonda kwa Bugingo tekumatiza kubanga yazze mu bya kwewozaako nga bw'agamba nti omukyala ye yabitandika era nga nakyo kyayongedde kubalumya ng'abakyala.

Yagambye nti leero ku Mmande bagenda kuddiza Bugingo ppamba omungi gwe yaguliranga Teddy kubanga ayinza okuba nga y'akyamuluma.

Halod Kaija omuwandiisi wa FDC yeewuunyizza nti Bugingo bw'aba tasobola kukuuma kitiibwa ky'amaka ge, agamba atya nti asobola okugoba emizimu mu bantu! Minisita Nakiwala Kiyingi; Abasajja muyige okwetonda tekirina kye kibaggyako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo