TOP

Owa Angola anaatabaganya Museveni ne Kagame

Added 15th July 2019

Owa Angola anaatabaganya Museveni ne Kagame

 Pulezidenti Museveni ne Kagame

Pulezidenti Museveni ne Kagame

GAVUMENTI ya Angola ne DR Congo ziyingidde mu butakkaanya obuliwo wakati wa Uganda ne Rwanda, abakulembeze baazo ne beeyama okukola kyonna okisoboka okulaba nti Pulezidenti Museveni ne Paul Kagame baddamu okulinnya mu kimu.

Bino byabadde mu kibuga Luanda ekya Angola ku Lwokutaano mu kafubo ak'abakulumbeze abana: João Lourenço owa Angola, Félix Tshisekedi owa DR Congo, Yoweri Museveni, ne Paul Kagame.

Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa gavumenti ya Angola kyategeezezza nti Angola ne DR Congo zigenda kukola enteekateeka okulaba nti obutakkaanya obuliwo wakati wa Uganda ne Rwanda bogonjoolwa.

Bino biddiridde embiranye wakati wa Rwanda ne Uganda okuva Nga February 28, 2019, Pulezidenti Kagame lwe yalagira ensalo ey'e Katuna okuggalwawo era n'agaana n'ebyamaguzi bya Uganda okuddamu okutundibwa e Rwanda.

Wabula Uganda yagaana okuggala ensalo yaayo, Pulezidenti Museveni n'ategeeza nti ekyo tayinza kukikola kubanga amawanga ga Africa galina obwasseruganda ng'okuggalawo ensalo kubeera kukosa abantu babulijjo.

Okuva embiranye wakati wa Uganda ne Rwanda lwe yatandika mu February, Pulezidenti Museveni ne Kagame babadde baakasisinkanamu enfunda bbiri; e Addis Ababa mu Ethiopia ne South Africa, wabula nga beesanga bwesanzi ku mikolo ssi kusisinkana okuteesa ku butakkaanya bw'amawanga gaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...