TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Yennyamidde olw'abafumbo abaasanguza ebyama by'omu maka

Yennyamidde olw'abafumbo abaasanguza ebyama by'omu maka

Added 15th July 2019

Yennyamidde olw’abafumbo abaasanguza ebyama by’omu maka

 Omubaka wa Bukomansimbi South, Deogratious Kiyingi ng’akwasa Omusumba Jjumba (owookubiri ku ddyo) ekirabo. Amuddiridde ye Musumba Kaggwa eyawummudde ne Fr. Dr. Kaganda (ku ddyo).

Omubaka wa Bukomansimbi South, Deogratious Kiyingi ng’akwasa Omusumba Jjumba (owookubiri ku ddyo) ekirabo. Amuddiridde ye Musumba Kaggwa eyawummudde ne Fr. Dr. Kaganda (ku ddyo).

OMUSUMBA w'Essaza lye Masaka eyawummudde, John Baptist Kaggwa yennyamidde olw'abafumbo abafudde eky'okwasanguza ebyama by'omu maka gaabwe mu lujjudde omulimu. Bino yabyogeredde Nsambya ku Bp. Ddungu Memorial Gardens eggulo bwe yabadde ayigiriza mu mmisa ya Bannamasaka ababeera mu Kampala ebeerawo buli luvannyuma lwa myezi esatu.

Mmisa eno yakulembeddwaamu omusumba omuggya, Severus Jjumba nga muno yabatirizzaamu n'abaana babiri. Mu bubaka bwe yasabye Katonda okunyweza buli mukkiriza era n'abasaba buli omu okusabira munne.

Yabasabye okumusabira n'okumanya obuvunaanyizibwa bw'ayolekedde ng'omusumba naddala okukuuma ennono z'Eklezia okuviira ddala ku batume. Yagambye nti edda ebyafanga mu maka g'abantu byabanga bya kyama wabula ennaku zino amaka mangi bwe gafuna ebisoomooza ensonga ziggweera mu mawulire na mu kkooti.

Yalaze okutya olw'abafumbo abasinga okuba nga tebakyagumira bannaabwe era bwe bafuna ebibasoomooza n'ebizibu ng'endwadde n'okukaddiwa nga badduka bafunayo ebikubiro.

Yawadde abasajja amagezi okugumira ebizibu nga bizze nga beefumiitiriza ku mateeka ga Katonda ekkumi n'okusingira ddala okwagala Katonda ne bantu bannaabwe nga bwe beeyagala. "Abasajja balina ebikubiro bingi era bikoze kinene okutabula obufumbo bw'abalala. Mwe abakyala lwaki mukkiriza okubeera ebikubiro?'' Omusumba Kaggwa bwe yeebuuzizza.

Yalaze okutya olw'ettemu ly'emmundu erikolebwa ku Bannayuganda eryeyongedde n'amasabo agazimbibwa mu maka g'abantu buli lukya by'agamba nti bivuddeko bangi okwerabira Katonda.

Omukolo gwetabiddwaako minisita w'abavubuka n'abaana, Florence Nakiwala Kiyingi n'ababaka be Bukomansimbi, Deogratious Kiyingi (Bukomansimbi South) ne Veronica Nannyondo (Omukazi, Bukomansimbi) abava mu kigo kye Buyoga . Bano baalamaze mu kifo kino nga baakulembeddwaamu Vicar.

Genero we Masaka, Msgr. Dominic Ssengoba. Bano baawaddeyo ensimbi ezisoba mu bukadde mwenda okudduukirira emirimu gy'essaza ly'e Masaka. Minisita Nakiwala Kiyingi yavumiridde ebikolwa by'abazadde abagenda baasanguza ebyama by'omu maka mu lujjudde n'agamba nti kiwa ekifaananyi ekibi eri abaana abato

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...