
OWA bodaboda omulala attiddwa mu bitundu by'e Lwengo omulambo gwe ne gusuulibwa mu kibira ky'e Kyamaganda mu ggombolola y'e Kisekka. Rogers Mulindwa 29, yattiddwa mu bukambwe bwe yateegeddwa abatemu abatannaba kumanyika.
Yakubiddwa nnyondo ku mutwe eyamuyiye obwongo. Omulambo gwe gwasangiddwa ng'emikono gisibiddwa. Pikipiki ye ekika kya Bajaj Boxer nnamba UEW 509U n'ensimbi ze yabadde nazo baabitutte.
Bino okubaawo wabadde waakayitawo wiiki emu ng'abatemu baakatta owa bodaboda Ronald Nkangi mu bitundu by'e Mbiriizi e Lwengo ng'ono naye baamubbako pikipiki ye eya kika kya Bajaj Boxer nnamba UEU 990M.
Ettemu lino lyongedde obunkenke n'akasattiro naddala mu bavuzi ba bodaboda aboolekedde okwabulira omulimu guno olw'obutemu obubakolebwako emisana ttuku. Bagamba nti mu kusooka abantu baali beekwasa nti be beereetera ettemu olw'okubalumirizanga okuvuga amatumbibudde.
Kigambibwa nti omugenzi yakomye okulabibwako akawungeezi ku ssaawa nga 1:00 ng'ono banne bwe babadde bakola tebazzeemu kumulabako ekitegeeza nti yatemuddwa mu budde obwo bwe yabaviiriddeko.
Bano baakanze kumulinda okukola nga bw'abadde akeera ku siteegi eya Top Betting mu kabuga k'e Kinoni nga buteerere okutuusa ababodaboda bwe basambye ensiko eno gye bagwiridde ku mulambo gwe ogwasuuliddwa mu kibira kyokka nga kirabika nti abatemu baalwanaganye n'omugenzi nga tannafa.
Aba bodaboda basabye poliisi ebakkirize okwekolera ku yenna akwatibwa mu bubbi bwa bodaboda kyokka akulira poliisi y'e Kinoni Abbo Marion n'abalabula okukyewala kuba kuba kutwalira mateeka mu ngalo