TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababaka balaze ekirina okukolebwa ku bubbi bwa pikipiki

Ababaka balaze ekirina okukolebwa ku bubbi bwa pikipiki

Added 15th July 2019

Ababaka balaze ekirina okukolebwa ku bubbi bwa pikipiki

 Lydia Mirembe mubaka omukyala owe Butambula mu Palamenti yoomu ku babaka abaayogedde ku bubbi bwa boda boda

Lydia Mirembe mubaka omukyala owe Butambula mu Palamenti yoomu ku babaka abaayogedde ku bubbi bwa boda boda

 

Ababaka ba palamenti balaze engeri bodaboda gye zibbibwamu mu bitundu byabwe ne bawa amagezi agalina okweyambisibwa okumalawo ekizibu kino. Ababaka okuvaayo kiddiridde Sadat Katabira ssentebe w'ekibiina ekigatta abavuzi ba bodaboda mu ggwanga abeegattira mu kibiina kya Bodaboda Team Hakuna Mchezo (BOTHAM) okutegeeza nti buli lunaku mu Kampala, Wakiso ne Mukono babbamu piki eziwera 10.

Bagamba nti, ku bantu 10, basatu battibwa, basatu bagenda n'ebisago ebyamaanyi nga n'abamu tebasobola kuddamu kukola ate bana, batuusibwako ebisago ebisaamusaamu nga basobola okuwona amangu.

Yasabye poliisi efulumye lipooti ekwata ku bodaboda zonna ezizze zibbibwa n'abazivuga abattibwa era balage n'amakubo ge batemye okumalawo ekizibu kino. Okunoonyereza aba bodaboda kwe bakoze kulaga nti ebifo ebitunda sipeeya biri butereevu mu lukwe lw'okubba pikipiki.

 

Omubaka Patrick Mukasa

Baagala wateekebwewo etteeka erifuga abatunda sipeeya kirambululwe ku ngeri gye bamufunamu n'okumutunda. Lydia Mirembe (mukazi/Butambala) yategeezezza nti obubbi bwa bodaboda butawaanyizza nnyo ab'e Butambala kuba buli wiiki afuna amawulire nti waliwo bodaboda eyabbiddwa. Kye baazuula mu byalo mulimu abavuzi abakolagana n'obubinja bw'abamenyi b'amateeka okuva mu bitundu by'ewala.

Yasabye aba boda boda okwekolamu omulimu batandike okwegendereza ennyo abantu be basaabaza naddala be basanga mu makubo, bateekawo enkola y'okwaza, okukendeeza ku budde bw'ekiro bwe bakola n'okukuba ebifaananyi abantu be batambuza nga bakozesa essimu.

Luttamaguzi Ssemakula (Nakaseke South) yagambye nti gavumenti wadde efubye okuteeka kkamera ku nguudo, kyokka ekizibu kikyaliwo kuba bodaboda n'abakozi ba mobile money bakyatulugunyizibwa.

Yasabye Gavumenti okussa omusolo gwesaba ku kkamera kisobozese abantu okuzigula ku bbeeyi ya wansi. Patrick Mukasa Opondo (Bujumba) yeewunyizza okubeera nga wadde waliwo ebitaala ku nguudo n'abaserikale ba LDU kyokka obubbi bukyalemeddewo.

Yasabye aba bodaboda okwekolamu omulimu nga beegobamu abakyamu kuba enkwe nnyingi zikolebwa bannaabwe. Yategeezezza nti ekikyabayambye ku bizinga lwa kubeera nga beetooloddwa mazzi ekizibuwaliza omubbi okudduka.

Sarah Nakawunde (mukazi/ Mpigi) yategeezezza nti kumpi buli lunaku bamutegeeza nga bwe waliwo piki ebbiddwa mu disitulikiti.

Yawadde aba bodaboda amagezi okutandikawo enkola y'okukuba buli musaabaze ekifaananyi nga tannaba kulinnya pikipiki. Omuntu bwabeera ng'abadde yeesabise, alina kusooka kubiggyako bwagaana nga bamuleka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...