TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nakiziyivu okwagala kw'alina eri abayizi tewali gwe kuleka mabega

Nakiziyivu okwagala kw'alina eri abayizi tewali gwe kuleka mabega

Added 15th July 2019

Nakiziyivu okwagala kw’alina eri abayizi tewali gwe kuleka mabega

 Nakiziyivu ng’azannya n’abayizi.

Nakiziyivu ng’azannya n’abayizi.

OMUSOMESA owenjawulo akola kinene ku kiki omuyizi kyalibeera mu bulamu bwe obw'omu maaso. Jane Nakiziyivu, omusomesa wa Literacy I ne II mu P3 ku ssomero lya Eliana Junior School e Nalukolongo, basomesa banne n'abazadde bamwagala olw'ekitone kye eky'okuzuula obunafu n'amaanyi g'abayizi by'akozesa okubasomesa ne bakwata bulungi nga basanyufu.

Peter Luyombya, akulira ebyensoma agamba; Nakiziyivu musomesa asukkulumye ku banne kubanga teyeetaaga kusindika, buli kimu akikolera mu budde. Emyaka etaano gye naakamulaba, teri amusooka kutuuka ku ssomero n'atandika okwaniriza abayizi.

Afaayo ku buli muyizi era buli omu olaba ng'amwettanira okumuyamba. Buli muyizi amukwatako ssekinnoomu, bw'aba asomesa ng'ekigambo ky'asomesa kizibu afuba okukikutulakutulamu mu butundutundu abayizi basobole okukitegeera, abeera muyonjo mu mirimu gye, ategeka by'alina okusomesezaamu mu budde, ekimuyambye okubeera omusomesa omulungi, wano ku Eliana Junior School. Tumutwala nti wa njawulo, kuba by'akola abikola buli lunaku awatali kukakibwa oba kusindiikirizibwa ng'abamu bwe bakola.

Ayagala abayizi be b'asomesa, ku ssomero tulina eddiiro ffenna abasomesa mwe tuliira emmere naye ye yakigaana, eyiye agitwala n'alya n'abayizi be nga bwe banyumya, kimuyambye okubeera mukwano gw'abayizi ne bategeera by'abasomesa.

Nakiziyivu ye musomesa amanyi enneeyisa ya buli muyizi mu kibiina kye. Jane Nakiziyivu, musomesa wa kibiina kyakusatu, ku Eliana Junior School e Nalukolongo, agamba;

JANE NAKIZIYIVU AKIKOLA ATYA Naakamala emyaka 11 mu busomesa okuva 2008, ekimu ku byansikiriza okuyingira obusomesa, nayagala okuzuula ekitone ky'omwana oyo omusirise mu kibiina, atatera kufiibwako basomesa.

Nzijukira bwe nali nsoma pulayimale ku ssomero lya St. Stephen's Kisugu, nali musirise mu kibiina, olumu, omusomesa waffe yabuuza ani asobola okuzina amazina amaganda, nawanika omukono nga njagala nange ngezeeko, bwe nagezaako nga sisobola bulungi, omusomesa yanvuma buvumi nti sirina kye nsobola sibamalira budde nzireyo ntuule

. Nali muto, naye nayisibwa bubi, era okuva olwo nga ntuula mabega nga saagala na kuwanika mukono ku kintu kyonna ekiba kibuuziddwa ne bwe mba nkimanyi oba nga nandi yagadde okugezaako.

Okuva olwo ne nfuna ekirownti njagala kubeera musomesa nsobole okuzuula n'okuyamba omwana ono omusirise gwe basuuliridde, nzuule amaanyi ge n'obunafu bwe nga ssimujereze bujerezi wabula muyambe naye aveeyo.

Era bwe nakula ne nsoma busomesa, essira lyange nditeeka ku bayizi bonna ate ne nteekamu ak'ensusso eri abayizi abo abasirise ababeera mu kibiina nga beetya okubaako kye boogera n'abo abatakola bulungi. sibalekerera mu biba bibalemye, mbatuukako kinnoomu mu budde bwaffe obw'eddembe ne mbalaga eky'okukola ekituufu n'okubazzaamu amaanyi nti nabo basobola okukola obulungi ng'abalala.

Nkozesa akakodyo k'okubaagala ne mbeera mukwano gwabwe, okubabudaabuda n'okubazzaamu amaanyi wadde baba balina ebibalemye nti basobola ssinga bongera okugezaako, okusaaga nga nsomesa kinfudde mukwano gw'abayizi bangi, sisomesa mu kibiina abayizi ne beebaka, buli kye tusoma mbannyonnyola n'okubalaga bwe kifaanana ne kibayamba obuteerabira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...