TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusuubuzi atutte ekiwandiiko mu kakiiko kakangavvule Paasita Bugingo

Omusuubuzi atutte ekiwandiiko mu kakiiko kakangavvule Paasita Bugingo

Added 16th July 2019

Omusuubuzi atutte ekiwandiiko mu kakiiko kakangavvule Paasita Bugingo

 Muky. Kazibwe n’ekiwandiiko.

Muky. Kazibwe n’ekiwandiiko.

MUKYALA Jane Werikhe Kazibwe, omusuubuzi mu Kampala atutte ekiwandiiko ku kitebe ky'akakiiko akavunaanyizibwa ku biweerezebwa ku ttivvi ne leediyo aka UCC e Bugoloobi n'asaba wabeewo ekikolebwa ku Bugingo.

Ayagala Bugingo aweebwe ekiragiro obutaddayo kwogera ku mukyala we Teddy Naluswa kubanga takyalinayo kirungi ky'amwogerako okuggyako okumuvuma, okumuvvoola n'okumuswazaswaza. Agamba nti takomye ku Teddy naye aweebuula n'abakazi bonna.

Era ayagala UCC okukoma ku Bugingo obutaddamu kulumba muntu yenna okuva mukyala we, basumba banne oba omwana we kubanga abantu Bugingo b'alumba bakulu abalina famire ezibassaamu ekitiibwa ate nga bakulembeze mu makanisa ge basumba.

Jane era ayagala ekitongole kya UCC kiyite Bugingo kimujjukize oba okumusomesa agamu ku mateeka agamufuga ng'akutte akazindaalo oba ng'ali ku mpewo kubanga kirabika yageerabira.

Era bamulabule okumuggyako layisinsi eyamuweebwa nga bamuwa olukusa olumukkiriza okubeera ku mpewo. Jane ayagala Bugingo yeemalire mu kubuulira njiri eyo abantu gye bamumanyidde ng'omusumba ave mu kuvuma n'okulengezza abantu okuli mukyala we.

Jane agamba nti talina muntu yenna amutumye era talina kirowoozo kirwanyisa Bugingo wadde okumugaana okuwasa omuwala Susan Makula Nantaba gw'ayagala naye kibeera kibi nnyo okulangira mukyalawe gw'alinamu abaana ate mu lujjudde.

Era ayagala UCC okussa amaanyi ku Paasita Bugingo akyuse mu nneeyisa ye kubanga musajja aweebwa ekitiibwa era awulirwa abantu bangi nga buli ky'ayogera kyangu nnyo abantu okukitwala ng'ekituufu era ekirungi okukola. So nga bingi Bugingo by'akola naddala ku mpewo bikontana n'empisa z'obugunjufu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...