TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ogwa Dr. Stella Nyanzi okulebula Museveni gusalwa nga 1, August

Ogwa Dr. Stella Nyanzi okulebula Museveni gusalwa nga 1, August

Added 16th July 2019

DR. STELLAH Nyanzi, emisango gye egy’okuvuma President Yoweri Kaguta Museveni ng’ayita ku mukutu gwa facebook gya kusalwa nga August 1 oluvannyuma lw’okulemererwa okuleeta abajulizi be yali awaddeyo mu kkooti abalina okumuwolereza.

 Dr. Stella Nyanzi

Dr. Stella Nyanzi

Bya ANNET NALUGWA 

Omulamuzi Gladys Kamasanyu owa kkooti ya Buganda Road yalagidde kino oluvannyuma lw'okulemererwa okubaleeta ate nga kkooti eno eyongezzaayo emirundi agiwera nga tabaleeta, omulamuzi kwe kusalawo nga August 1 omwaka guno awe ensala ye.

Nyanzi yawaayo pulezidenti Museveni ng'omujulizi asooka, n'agattako bapolofeesa b'e Makerere ne bannaddiini ku misango gy'okuvuma Pulezidenti Museveni ng'ayita ku mukutu gwa facebook kyokka kkooti Pulezidenti ne muggyaako kuba mu mateeka talina kuggya mu kkooti ng'akyali mu ofiisi eyo olwo ne basigala abajulizi 19 nabo abatawadde bujulizi.

Dr. Nyanzi avunaanibwa okukozesa obubi yintaneeti, okuvvoola ekitiibwa n'okunyiiza Pulezidenti Museveni. Nyanzi yawa kkooti olukalala lw'abantu 20 abagenda okumuwolereza n'asaba kkooti ebawe ebiwandiiko ebibayita mu budde kubanga abasinga bakozi ba

Gavumenti noolwekyo ssi kyangu kwereeta bokka okuggyako nga kkooti ebayise.

Olukalala luno kwaliko; Pulezidenti Museveni ng'omujulizi asooka n'agamba nti oludda oluwaabi lugamba nti, baamuvuma asaanye ajje abuulire kkooti ensonga ze ku Dr. Stella Nyanzi.

Abalala kwaliko; Grace Akullo akulira bambega ba poliisi mu ggwanga, Fr. Gaetano Batanyenda, Bp. Zac David Niringiye, omumbejja Solome Nakaweesi, Frank Kitumba, Mustafah Mugisa, Polof. Suzan Kiguli, Polof. Slyivia Tamale n'abalala

Okuva mu November w'omwaka oguwedde Nyanzi ali ku limanda e Luzira era yasalawo kusirika wabula nga yalina essuubi nti abajulizi abo be banaamuwolereza ku misango gino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...