TOP

Ente 2,000 ze zifa buli mwaka mu kyeya e Ngoma

Added 16th July 2019

ABALUNZI mu bintu by’e Ngoma bakubidde gavumenti omulanga okubayamba ku kusoomoozebwa kw’amazzi okubakosa ennyo ne bafiirwa ebisolo byabwe.

Meeya w'ekibuga ky'e Ngoma, Wasswa Ziritwawula bwe yabadde ayogera mu mwoleso gw'obulunzi ogwabadde ku Klezia ya St. Cyprian - Ngoma, ogwategekeddwa aba Brookside Ltd.

Yagambye nti buli sizoni y'ekyeya abalunzi mu bitundu bino bafiirwa ente ezisoba mu 2,000.

"Tulina ebitusoomooza eby'enjawulo ebitulemesa okufuna mu bulunzi omuli; ebbula ly'amazzi nga buli ekyeya lwe kitandika tufiirizibwa nnyo. Eddagala ly'ebicupuli nalyo litufiiriza era tulina obweraliikirivu ku ttaka olw'abaagala okusengula abantu", Meeya Wasswa bwe yagambye.

Bino yabadde abigamba eyali minisita w'ebyensimbi n'amasannyalaze era omubaka wa Nakaseke North mu Palamenti Syda Bbumba, abagenyi n'abalunzi okuva e Ngoma, Kyankwanzi, Luweero, Kiboga, Nakaseke, Nakasongola ne disitulikiti endala.

Bbumba, yabakubirizza okweyambisa tekinologye n'okukuuma omutindo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmanuel Sserunjogi meeya we Kawempe.

'Gavt enoonyereze ku nfa ya...

MEEYA w'e Kawempe asabye gavumenti okunoonyerezza ku ngambo eziyitingana ku nfa ya Ssaabasumba n'okulekulira kwa...

Lumu omusomesa w'e Gayaza ng'ayimba.

Omusomesa w'e Gayaza Junior...

  Omusomesa wa Gayaza Junior School   Richard Lumu ayiiyiiza oluyimba olukungubagira Ssaabasumba Cyprian Kizito...

Fr.Sserugga ng'abatiza omwana.

'Mwegendereze amannya ge mu...

Abazadde bakubiriziddwa bulijjo okubeera  abegendereza ennyo ku mannya ge batuuma abaana baabwe beewale okumala...

Omulabirizi Tamale n'abamu ku bannaddiini mu kusaba kwa Paasika.

Okufa kwa Ssaabasumba kutuk...

OMULABIRIZI wa West Buganda, Rt. Rev Henry Katumba Tamale ye yakulembeddemu okusinza kwa Paasika mu Lutikko ya...

Ssaabasumba Jonah Lwanga ng'asaba ku Paasika.

Eklesia y'Abasodokisi mu Ug...

EKLESIA y'Abasodokisi mu Uganda esabidde Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng'Obuganda bw'etegekera okujaguza amazaalibwa...