TOP

Mulunde ebyennyanja - Museveni

Added 17th July 2019

Mulunde ebyennyanja - Museveni

 Museveni ng’asala keeki n’abakulembeze abakyala e Lugogo eggulo.

Museveni ng’asala keeki n’abakulembeze abakyala e Lugogo eggulo.

PULEZIDENTI Museveni awadde Bannayuganda amagezi okulunda ebyennyanja buli asobola kubanga bisoboka, byetaaga ekifo kitono, birina akatale ate tebyetaaga ssente nnyingi.

Museveni eyabadde asisinkanye abakulembeze ba NRM okuva mu disitulikiti z'amassekkati ga Uganda omuli Luweero, Mpigi, Mukono, Buikwe, Butambala, Buvuma, Gomba, Kayunga, Nakaseke ne Nakasongola, yabasabye okusaasaanya enjiri mu bantu ba wansi nti obulimi bwokka bwe bujja okuggya Uganda mu bwavu. Yabadde Lugogo mu kisaawe kya Cricket eggulo ku Lwokubiri.

Yagambye nti buli maka geetaaga okwettanira okulima n'okulunda basobole okwebeezaawo kuba bafunamu emmere, esigaddewo ne bagitunda okwefuniramu ensimbi.

Museveni agamba nti okulima ebintu ebimu ng'ebikajjo, ppamba n'ebirala byetaaga ebyuma eby'amaanyi nga tulakita, ssente nnyingi n'ettaka ddene abantu abasinga bye batalina so ng'ebyennyanja osima kidiba ng'obissaamu ng'otandika kubiwa mmere ne bwe kitabeera kinene kibimala.

Abakulembeze bonna abaabadde mu lukiiko baayongedde okukikooneramu Museveni yeesimbewo mu kulonda kwa Pulezidenti mu 2021 nga tavuganyiziddwa muntu yenna mu kamyufu ka NRM.

Museveni yategeezezza nti, NRM yajja mu buyinza okusomesa abantu b'awansi ebintu ebimu bye batamanyi omuli n'okubeera nti omuntu asobola okulima emmere ku ttaka ettono ly'alina n'awona okufa enjala n'abantu be ate n'atundako n'aba ne ssente mu nsawo.

Kwe kusaba abakulembeze ku mitendera gyonna babisomese be bakulembera. Ku mukolo guno ogwajjuzza ekisaawe kya Cricket e Lugogo, abakulembeze abakazi mu NRM baatonedde Pulezidenti Museveni keeki gye baakoze mu bbaasi nga kuliko n'enkoofiira ng'eyiye gy'ayambala olwo ne bassaako ebigambo: MZEEI FOR 2021 (ekitegeeza nti Muzeeyi gwe twagala mu 2021).

Keeki eno Pulezidenti yagisaze n'abakyala bano wakati mu nduulu ey'oluleekereeke ng'abalala bwe bakuba emizira n'engalo okwongera okukkaatiriza obuwagizi bwabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...