TOP

Sikyalina mukwano eri mukyala wange

Added 17th July 2019

Nnalina omukyala n’anoba okumala emyaka etaano ate bwe yamala n’akomawo era ne muleka kyokka nga sseegatta naye kubanga si nze nnamugoba. Mu kiseera ekyo nnali nfunye omukyala omulala naye ng’abeera wuwe.

Nnasalawo omukyala ono mufunire w'abeera kubanga mulinamu abaana babiri.

Ssenga nasazeewo okuviira omukyala omukulu kubanga sikyalina mukwano gy'ali kyokka bazadde be bahhamba nti nnina okusigala naye.

Nze ekyo sikisobola ssenga, mpa ku magezi. Mwana wange oli muntu mukulu era ggwe olina okwesalirawo ku nsonga eno. Omukyala oyo yanoba n'agenda ate n'akomawo nga tomugambye.

Y'amanyi lwaki yakikola kuba ggwe wali wamuvaako ng'ofunye n'omukyala omulala.

Kati ate bw'akomawo n'omuwa ekitiibwa nga maama w'abaana, talina kukusalirawo. Wamukkiriza akuze abaana nga omusajja omutegeevu bw'alina okukola. Kitegeeza omukwano wasigaza gwa baana.

Yalowooza mu maaso ojja kumuddiramu. Genda mu maaso n'endowooza gy'olina ey'okuba n'omukyala akuwa emirembe.

Ekikulu olina okusigaza obuvunaanyizibwa ng'olabirira amaka go n'abaana. Bazadde b'omukyala ono basobola okuba nga tebamanyi kiriwo nga yabagamba nti yakomawo ng'omukyala ddala.

Weetaaga okubannyonnyola. Obanga ddala yali ayagala obufumbo yandibadde akomawo mangu ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono